
Bya Ssemakula John
Kakeeka – Mmengo
Abayizi abasoba mu 1200 be bagenda okutikkirwa mu bukugu obwenjawulo ku kitebe kya Ssettendekero wa Muteesa I Royal University ekisangibwa e Kirumba – Masaka ku Lwokutaano luno.
Bino byogeddwa akuliddemu enteekateeka eno, Dr. Ronald Kyagulanyi, ku Lwokubiri bw’abadde ayogerako eri Bannamawulire ku ttabi lya Muteesa I Royal University, e Kakeeka – Mmengo mu Kyaddondo.
Dr. Kyagulanyi agambye nti gano ge matikkira ag’omulundi ogw’ekkumi, era abayizi bakufuna amabaluwa agabakakasa obukugu bwebafunye ku mitendera egy’enjawulo okuli Ddiguli, Dipulooma ne Satifikeeti.
Amatikkira gano wegatuukidde nga Ssettendekero ono awezezza emyaka 15 nga abangula abayizi mu bukugu obwenjawulo era mu myaka gino asobodde okufulumya abakugu abasoba mu mutwalo gumu.
Dr. Kyagulanyi agambye nti abayizi abagenbda okutikkirwa bandisinzeewo, kyokka abamu baasoomoozebwa Lumiimamawuggwe ne batatuukiriza bisaanyizo ku mulundi guno.

Ye akulira abayizi ku ttendekero lyabasoma eby’embeera z’abantu, Dr. Rosemary Nakijoba, ategeezezza nti Ssetendekero wa Muteesa I, ayambye nnyo abayizi mu bukugu obw’okweyimirizaawo, nga bamaze okutikkirwa nebatandikawo egyabwe.
Ye akulira abayizi ku ttendekero lya Tekinologiya neba Yinginiya ku Muteesa, Dr. Patrick Bukenya, annyonnyodde nti batandiseewo amasomo egituukana ne tekinologiya okusobozesa abayizi okukola emirimu era basobole okuvuganya ku katale k’ensi yonna.
Ssettendekero ono yatandikibwawo Ssaabasajja Kabaka okusobola okubangula abaana b’eggwanga ku mutindo gw’ensi yonna ku bisale ebisobolwa abantu be.









