Obwakabaka bwetabye ku Matikkira ga Kyabazinga ag’omulundi ogw’okutaano
Obwakabaka ku mukolo guno bukikiriddwa Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri, Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Minisita w’amawulire, Olukiiko, Kabineeti, Abagenyi Era Omwogezi w’obwakabaka Noah Kiyimba ne Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu Joseph Kawuki, ku mukolo ogubadde ku kyalo Kamira mu gombolola ye Butagaya mu district ye Jinja.
Ku lw’Obwakabaka, Owek Wagga Nsibirwa, yeebazizza Kyabazinga olw’okulemberamu ekisinde eky’okuzza ennono n’obuwangwa wamu n’Enkulaakulana eyabasoga. Agasseeko nti Obwakabaka bwa Buganda n’obwa kyabazinga bujja kutambulira wamu ku nsonga z’ennono, obuwangwa n’Enkulaakulana kubanga omukwano n’obwa Sseruganda obwa Buganda ne Busoga bwava wala. Owek Nsibirwa agaseeko nti mu myaka etaano egya Kyabazinga Nadiope waliwo enkulaakulana etuukiddwako omuli, okubeera obumu n’enkulaakulana mu bantu be Busoga.
Gano gabadde matikkira ag’omulundi ogw’okutaano bukya Kyabazinga Wilberforce Gabula Nadiope IV atuuzibwa ku ntebe y’obwa Kyabazinga.