Musasi waffe

Emikolo gy’okujjukira nga bwegiweze emyaka 27 nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atudde ku Namulondo ya bajjajjabe alamula Obuganda gyakwetabwako abantu 55.
Bwabadde ayanjula enteekateeka enaagobererwa, Oweek. David Kyewalabye Male, ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi yategeezezza nti bino byonna bikoleddwa okusobola okwewala ekirwadde kya coronavirus.
Omukolo guno gwali gwa kubeera mu ssaza ly’e Ssingo e Kyankwanzi wabula olwa Covid-19 neguzzibwa mu Lubiri e Mmengo.
Okusinziira ku Kyewalabye, abantu bano 55 bagenda kukiikirira ebibinja by’abantu omuli gavumenti eyawakati, Abataka, Olukiiko lwa Buganda, Abamasaza, Ababaka okuva ebweru n’ebibiina bya bavubuka.
“Abaneetaba ku mukolo guno bonna bajja kujja nga bayambadde obukookolo, bajja kukeberebwa n’obuuma obupima ebbugumu era bajja kwesuula amabanga,” Kyewalabye bweyagambye.
Okusinzira ku nteekateeka nga
22 Kasambula, wajja kubaawo omusomo eri abamawulire ku mulamwa g’okulwanyisa mukenenya wakati mu ssenyiga kolona.
Omusomo guno gugenda kubeera ku mutimbagano guyite zoom.
Nga 24 wagenda kubaawo omusomo eri Abataka Ab’obusolya wamu n’abaami b’amasaza nago gwakubeera ku zoom.
Nga 25/07 wanaabaawo okukola bulungi bwansi naddala okusimba emiti ku Nnebalamyemayanja. Kuno nako kwakukolebwa mu nkola ya sayansi.
Ku lunaku lwerumu Katikkiro ajja kuwuliziganyaamu n’abantu ba Buganda ababeera emitala wa Mayanja mu kukubaganya ebirowoozo era mu nkola ya zoom.
Okukubaganya ebirowoozo kugenda kutambulira ku mulamwa ogugamba, “Buganda ey’omulembe Omutebi, okujaguza emyaka 27 Kabaka Mutebi ku Namulondo, gyetuvudde, wetuli ne gyetugenda.”
Nga 26/07 wajja kubaawo okwebaza Katonda mu maka g’omulabirizi e Namirembe wamu ne mu Ekereziya e Lubaga olw’emyaka 27 nga Ssaabasajja Kabaka atudde ku Namulondo y’abajjajjabe.
Nga 28/07 wanaabaawo omusomo eri abaami mu Bulange e Mmengo ku mulamwa ogugamba nti ‘abaami okukulemberamu kaweefube w’okulwanyisa mukenenya.’
Nga 29/07, Katikkiro ajja kwogera eri Obuganda anga ayita ku BBS Terefayina ne leediyo CBS era ng’omulamwa guli kukujjukira amatikkira.
Nga 31/07 wajja kubaawo omukolo omukulu mu Twekobe mu Lubiri e Mmengo.
Okusinziira ku Kyewalabye, Abagenyi bajja kutuuka ku saawa nnya ez’enkya era Omugenyi wa Kabaka ow’enjawulo ajja kutuuka ku ssaawa 4:45 ate Ssaabasajja Kabaka atuuke ku ssaawa 4:50
Emikolo emikulu egy’ennono gyonna gyakukolebwa omuli Ssaabasajja Kabaka okulamusa mujaguzo.
Kyokka Kabaka siwakukongojjebwa.
Kabaka ajja kugabula, era bwanaaba asiimye ajja kwogerako eri Obuganda.
Kabaka era asuubirwa okuwa amayinja ag’omuwendo eri abantu bataano beyasiima okuwa ku mukolo gwa’amazaalibwa kyokka guno tegwaliwo.
Muno mulimu Rev. Samuel Kasujja, Sheikh Hussein Rajab Kakooza, John John Eyaakuze, Prof. Josephine Nambooze Kiggundu ne Paulo Kawanga Ssemogerere.
Kyewalabye yategeezezza nti basuubira nti mukolo gwakuggwa nga ssaawa musanvu tezinnawera.









