Musasi waffe
Ng’Obuganda bujjukira nga bwegiweze emyaka 27 nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ali ku Namulondo ya bajjajjabe, amatikkira g’omwaka guno gaakukwatibwa mu Lubiri e Mmengo.
Ng’ayogerako eri Obuganda, Katikkiro Charles Peter Mayiga yategeezezza nti omukolo gw’okutikkira Kabaka gwegusinga gyonna obukulu mu Bwakabaka bwa Buganda.
“Kabaka kyekitikkiro kyebyo byonna byetukkiririzaamu, byetwasikira okuva ku bajjajjaffe omuli empisa, enneeyisa, obuwangwa, obulombolombo, ennono, omuli kalonda yenna atufuula Abaganda,” Mayiga bweyagambye.
Yagasseeko nti amatikkira nsonga nkulu kubanga kwekutambulizibwa ebyafaayo by’eggwanga Buganda nga n’olwekyo, newankubadde nga Uganda ekyagoyebwa ekirwadde kya coronavirus, amatikkira gano gaakubaayo.
Ssaabasajja Kabaka yasiima emikolo gy’okujjukira amatikkirage gitambuzibwe mu masaza gwonna 18 agakola Obwakabaka era ng’egyomulundi guno gibadde gigenda kubeera Kyankwanzi mu ssaza ly’e Ssingo.
“Ffenna tukimanyi nti Kabaka afuga bantu, n’olwekyo kikulu nnyo abantu Kabaka baafuga nebamulabako…Naye olw’embeera y’obulwadde buno ssenyiga Kolona..omwaka guno okujjukira amatikkira kugenda kubeera mu Lubiri e Mmengo ku mukolo ogunaabeerako abantu obutasukka 50,” Mayiga bweyagambye.
Yagasseeko nti omukolo guno gujja kutegekebwa mu ngeri etambulira ku nnambika ya basawo. Abantu bajja kuba batono, bajja kutuuzibwa nga beesudde amabanga, buli mugenyi ajja kwambala akakookolo era ajja kunaaba mungalo n’akalagala, nga tanaatuuzibwa.
Amatikkira g’omulundi guno gagenda kutaambulizibwa ku mulamwa g’okwekuuma ssenyiga kolona ne mukenenya.
Oweek. David Kyewaalabye Male minisita avuunaanyizibwa ku by’obuwangwa, ennono, embiri n’obulambuzi yagenda okuba ssentebe w’olukiiko olutegesi.
Ono waakumyukibwa Oweek. Mariam Nassejje Mayanja, minisita avunaanyizibwa ku ttaka.
Olukiiko era lwakutuulwako Agnes Nakibirige Ssempa, Kaggo, omwami atwala essaza ly’e Kyaddondo songa omuwandiisi y’omukungu Josephine Nantege Ssemanda, omuwandiisi ow’enkalakalikra mu woofiisi ya Katikkiro.
Ku lwakakiiko kano, Kyewaalabye yeeyamye okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwamuweereddwa.
“Tujja kukola kyonna ekisoboka kubanga amatikkira gano ganjawulo olw’engeri gyegategekeddwamu okulaba nga gagyayo ekinyusi ekyo ekisuubirwa mu matikkira ga kabaka,” Kyewalabye bweyagambye.