Bya Yusuf Muwuluzi
Nkoni – Buddu
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, akiggumizza ng’Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka aga 28 bwe gajja okubaawo mu mbeera yonna era enteekateeka z’omukolo guno zigenda mu maaso.
Bino Owek. Nsibirwa abyogedde ku Lwakusatu mu Lubiri lwe Nkoni mu Buddu bw’abadde alambula omulimu gw’okuyooyoota Olubiri luno we lutuuse n’okutongoza akakiiko akategesi ak’e Masaka.
“Amatikkira gano gajja kubeerayo, we kinaaba kyetaagisa okubeerayo abantu 20 bokka we tunaatuukira ku Matikkira era enteekateeka ejja kukolebwa nga tugoberera ebiragiro bya gavumenti tube n’abantu 20 mu Lubiri e Nkoni Amatikkira gagende mu maaso.Tulina essuubi nti we ganaatuukira gavumenti enaaba eseesetuddeko.” Owek. Waggwa bw’alambudde.
Kino kyaddiridde Pulezidenti Museveni okuwera enkung’aana z’abantu abangi okutangira Ssennyiga Corona ekyaleetedde bannabuddu okulowooza nti Amatikkira g’omulundi guno gasobola okusazibwamu.
Mu ngeri y’emu n’akakiiko k’e Buddu akateekateeka Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka aga 28 katongozeddwa okusobozesa enteekateeka eno okutambula obulungi.
Akakiiko kano kagenda kukulirwa Omubaka Abed Bwanika ng’amyukibwa Ssaabakristu w’essaza ly’e Masaka Regina Kitaka.
Era kano keegasse ku kakiiko akakulu ak’e Mmengo akakulirwa Owek. Robert Waggwa Nsibirwa.
Mu kutongoza akakiiko kano, Owek. Nsibirwa awerekeddwako Minisita w’ebyobuwangwa, Embiri, Amasiro n’ebyokwerinda, David Kyewalabye Male, Omuwanika wa Nkuluze Omuk. John Kitenda awamu n’abakungu abalala.
Okusinziira ku Minisita Waggwa Nsibirwa Amatikkira g’omwaka guno gaakutambulira wansi w’omulamwa, “Obuwangwa n’ennono okutumbula enkulaakulana y’abantu.”
Owek. Waggwa agamba nti mu bimu ku bikujjuko ebigenda okulemberamu, mulimu okuggulawo ennyumba z’e Ssentema eza ssente esaamusaamu, okugaba omusaayi mu mbuga y’essaza Buddu, omwoleso gwa CBS POWESA mu mbuga y’essaza e Buddu, okwongera okuwaayo mu kuzimba Buddukiro, ebyoto ssaako n’okukwasa ennyumba 2 eri abeetaaga okuweebwa mu ssaza Kkooki.
Ate Ppookino Jude Muleke asinzidde wano n’asaba bannamasaka okuwaayo obudde ne ssente basobozese omukolo guno okutambula obulungi. Oluvannyuma abakulu bano balambudde omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba Buddukiro we gutuuse.