
Bya Gerald Mulindwa
Ndeeba
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga yasabye abakwasisa amateeka obutasiikuula mmeme z’abantu nga bagateeka mu nkola era nokulaba nga tebabaako gwebesittaza.
Bino Katikkiro Mayiga yabyogeredde mu Ndeeba ku Kkanisa ya St. Peter’s eyamenyeddwa bweyabadde agenzeeyo okulambula ekifo kino n’okusaasira abakulisitaayo baayo ku Lwokutaana.
“Mulinga abafiriddwa omuntu olwa kino ekyaguddewo, amateeka ngamanyi kubanga mukimanyi ndi munnamateeka.
Naye amateeka tegateekeddwa kussibwa mu nkola mu ngeri eyesittaza oba esiikuula emmeme z’abantu n’okubalemesa okweyagalira mwebyo bye bakkiriza,” Mayiga bweyanyonyodde.
Katikkiro yeewunyizza omuntu ayinza okweyimba mu kkanisa nagimenya nti ono obuvumu bweyakozesezza yabadde akyalemeddwa okubutegeera.

Ono yategeezezza nti ettaka lino liriko n’oluzzi Kalinda era nga amazzi galwo geyambisibwa e Naggalabi nga Kabaka attikirwa, kino kikolebwa okwoleka akakwate akaliwo wakati w’eddiini n’ennono z’obwakabaka bwa Buganda.
Mayiga yakakasizza nga Obwakabaka bwebugenda okulondoola ensonga eno n’obwegendereza era nasaba abakkiriza babeere bamalirivu kuba bakufuba okulaba nga tewali annyigirizibwa.
Bbo abakkiriza abasangiddwa mu kifo kino bategeezezza Katikkiro nga ettaka lino bwebaligula era nga n’okutuusa kati bakyewunya lwaki ekkanisa yabwe eyabamenya okuzimba yamenyeddwa mu ngeri eno.