• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Amasomero kikulu nnyo okufaayo ku bisulo by’abaana – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
May 8, 2026
in Amawulire
0 0
0
Amasomero kikulu nnyo okufaayo ku bisulo by’abaana – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Bukesa – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza amasomero okufaayo ennyo ku bisulo bye gasuzaamu abayizi baago ng’agamba nti kibayambako emisomo gyabwe okuyitimuka.

Bino abyogeredde Bukesa mu Kyaddondo bw’abadde aggulawo ekizimbe ekipya eky’ekisulo ky’abayizi aba Mengo SS ku Royal Boys Hostel, ekizimbe kyabuddwamu “Charles Peter Mayiga”.

Royal Boys Hostel yatandikibwawo Omulangira Tony Wasajja omuweereza mu Bwakabaka, era ono mu kwaniriza Katikkiro mu kifo kino asoose kumulambuza ekifo nga bwe kifaanana, era wano n’aggulawo ekizimbe ekyabbuddwa mu linnya lye, n’asimba n’omuti.

Katikkiro mu kwogera kwe agamba nti embeera omuyizi gy’aberaamu ekola kinene nnyo mu bulamu bwe okubeera omuntu atuukiridde era yebazizza Omulangira Wasajja Tony olw’okuteekawo ekifo awamu n’okukirabirira obulungi nga kiyonjo era nga kituukanye n’omutindo.

“Abayizi bwe babeera nga bava mu kifo nga kino nga bayonjo, nga balungamizibwa olwo byonna bajja kubituukako ensi bagirye. Omuntu abumbibwa bubimbibwa nga ensuwa era embeera nga eno ebasobozesa abaana okusoma obulungi wamu n’okufaayo okumanya obulamu bwe baddamu,” Kamalabyonna.

Katikkiro Mayiga ayagadde nnyo okubulirira awamu n’amagezi Omulangira gawa abayizi okweggyamu okubongoota mu bulamu bwabwe nga balabira ku ye by’akola n’obutegulumiza ky’agamba nti kigenda kubayambako nnyo mu bulamu.

“Okwolesebwa kwaffe, kwe kuzza Buganda ku ntikko, tobuuza Mengo ky’ekozeewo wabula webuuze kiki ky’okozeewo Buganda okudda ku ntikko, Omulangira ky’akozeewo wano kirabikirawo. Omuvubuka tafugibwa mubiri gwe wabula alina okukola ekintu ekituufu mu budde obutuufu kubanga abantu ssi bisolo nti obatwaala butwaazi.” Katikkiro.

Minisita w’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka Oweek. Choltildah Nakate Kikomeko yebazizza nnyo Katikkiro olw’okuwagira ebyenjigiriza, okutumbula obukulembeze. Ono yebaziza nnyo abatandiisi b’ekisulo kino olw’okukulembeza omulanga gwa Ssaabasajja Kabaka ogw’okutumbula omutindo nga bagatta ku byenjigiriza era musanyufu nnyo nti abayizi wano bafuna buli kintu mu bujjuvu.

Omutandisi w’ekisulo kino Omulangira Tony Wasajja agamba nti yennyumiriza nnyo mu Kamalabyonna wa Buganda Oweek Charles Peter Mayiga era bwe singa yali wa kusoma obuyigirize obw’omumaaso yandisomedde mu ttendekero lya Charles Peter Mayiga olw’ebigambo bye ebimusobozeseza okugumira buli mbeera nga kati awezeeza emyaka 5 ng’atandiseewo ekisulo kino.

Omulangira Wasajja agamba nti abayizi bano abayigiriza nnyo okubeera abakozi nga kati balina abantu be benyumirizaamu nga bayise wano, era agamba nti bagenda okuvaawo nga besiimbu, balamu bulungi, bayonjo ddala, beerufu nga balina n’omwoyo gwa sseruganda.

Pulezidenti w’ekissulo kino, Kimera Dalton agamba nti benyumiriza nnyo mu Mulangira Wasajja abakubiriza ennyo okukula nga abaana abalenzi nga kati bagenda okufuluma okuva mu kissulo kino nga bayize okukola ebintu ebibazimba mu nsi, ategeezeza nti bayize okulima wabweru w’essomero, okutandikawo ebintu ebirabibwako n’ebirala.

Muky. Najjero Rebecca, Amyuka Omukulembeze w’essomero lya Mengo SS yenyumiriza nnyo mu bayizi abasula mu kisulo kino olw’okuba nti banjawulo nnyo mu misomo gyabwe. Ono yebaziza nnyo Omulangira Wasajja olw’okulera abaana bano n’abakolamu omulimu ogw’ettendo.

Drake Kiganda ye Pulezidenti omuggya ow’ekisulo kino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.