Bya Gerald Mulindwa
Kyengera – Busiro
Kamalabyonna wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga agamba nti okwolesebwa kwa Buganda okudda ku ntikko, kitegeeza okuzzaawo ekitiibwa ky’omuntu asookerwako nga asobola okufuna obujjanjabi, okusomesa abaana, okufuna eky’okulya, n’okweyimirizaawo.
Okwogera bino, Mayiga abadde Kyengera mu Eklezia ya St. Joseph’s Parish, abagole Charles Mukasa Lukaaga ne Susan Namutebi bwe babadde bakuba ebirayiro okunyweza olugendo lw’obufumbo, era bano abakuutidde obutatwalirizibwa bigambo bimalamu maanyi ebyogerwa ku mitimbagano ku nsonga z’obufumbo wabula beekumire ebifa mu bufumbo bwabwe nga bya kyama. Abasabye bayigirize abaana obuwangwa n’ennono zaabwe Buganda eyongere okuggumira.
Katikkiro era asinzidde wano n’akubiriza abavubuka bettanire obufumbo baleme kubutya, ng’agamba nti newankubadde bulimu ebisoomooza naye essanyu nalyo mweriri noolwekyo okubukuuma kyetaagisa okumalirira n’okulenerako.
Rev. Fr. Kato Ssemwogerere yakulembeddemu ekitambiro kya mmisa eky’okugatta abagole, era ku lulwe akubirizza abagole okunyweza ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitangaala ekimulisa mu maka gaabwe basobole okuwangaala.
Omukolo gwetabiddwako ne Omutaka Allan Waliggo Nakirembeka Omukulu w’Ekika ky’Omutima Omusagi.