Bya Ssemakula John
Kampala
Eggye ly’eggwanga lirabudde bannansi ku bakyalakimpadde abakozesa boodabooda naddala mu budde obw’ekiro okubbirako abantu.
Okulabula kuno kukoleddwa omwogezi w’ekibinja ekisooka Maj. Bilal Katamba n’agamba nti ppikipiki ezitambula ekiro ng’obudde bugenze za bamenyi b’amateeka era abantu balina okuzeewala.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/10/katamba.jpg)
“Nkubiriza abantu nti bw’oba ng’okeereye weewale nnyo boodabooda ez’ekiro era ne bw’oba obasanze, gezaako okubeewala era n’aba boodabooda abakola ekiro balina okukikomya kubanga ojja kukwatibwa.” Katamba bw’agambye
Katamba agambye nti abazzi b’emisango beefuula abavuzi ba boodabooda ne batigomya abantu bw’atyo n’asaba abali mu mulimu guno okukozesa obudde obwabaweebwa beewale okukwatibwa mu budde bwa kafyu.
Ono yagambye nti bwe baabadde mu bikwekweto byabwe nga balawuna ng’eggye ekkuuma byalo, baliko Ppikipiki ze baasanze zisuuliddwa mu bitundu by’e Nabweru nga zisibiddwako ebijambiya era nga balowooza nti zino za kabinja ka b’ebijambiya.
Okusinziira ku Katamba obubbi obw’ekika kino buli nnyo mu bitundu okuli; Munisipaali y’e Nansana e Wakiso awamu ne Ndege -Lubugumu era nga balina Ppikipiki ze baakutte ezeekuusa ku bikolwa bino.
Ono wadde tawadde muwendo gwa bazzi b’emisango, LDU b’esobodde okutaayiza ne bakwata nga batambula ekiro okuva Pulezidenti Museveni lwe yalangirira kafyu naye agamba nti ebikolwa bino bingi era abantu balina okwegendereza.
Mu mwaka oguwedde, ab’ebyokwerinda baakola ebikwekweto nebakwata ababbi abasoba mu 15 nga bano bagambibwa okutemula aba boodabooda abasoba mu 20 mu bitundu bya Kampala, Wakiso ne Mukono