Bya Ssemakula John
Kampala
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Buganda, Owek. Robert Ssebunya, asabye Pulezidenti Museveni okwesonyiwa eby’okuwera mayiro kuba akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereirwe kaalaga nti bannansi bakyakkiriziganya n’okubeera n’obwannannyini ku ttaka mu nkola ya mayiro.
Okulabula kuno Owek. Ssebunnya yakukoze awayaamu ne bannamawulire mu mboozi eyaakafubo ku bigambo bya Minisita w’ebyettaka, Judith Nabakooba n’omumyuka we Sam Mayanja, okulaga nga bwe bagenda okuggyawo ettaka lya mayiro n’alaga nti tewali bwetaavu kuwera ttaka lya mayiro.
“Abantu bategeere nti akakiiko si ke kalina omusango okutegeeza Pulezidenti nti mayiro eveewo. Ffe twakkiriziganya bulungi nnyo bakamisona omusanvu nti tetujja kugiggyawo kubanga yali mu Ssemateeka. Ssemateeka agamba nti munnayuganda anaabeeranga n’ettaka nga lya mayiro oba liizi oba Freehold oba ery’ebika (Customary),” Ssebunnya bw’agambye.
Owek. Ssebunnya yannyonnyodde nti bwe baali banjulira Pulezidenti Museveni alipoota, yabalaga nti eky’okusemba mayiro esigalewo tekyamusanyusa era n’abalaga nti tebagitunuulidde bulungi.
Ono yajjukiza nti Museveni y’omu abantu mu Constituent Assembly bwe baasalawo okuwagira ettaka lya mayiro era teyasanyuka era teyamatira.
“Mayiro ekyali mu Ssemateeka era eri ne mu alipoota yaffe. Tetukikoonangako nti mayiro eveewo.” Ssebunnya bwe yagasseeko.
Ssebunnya agamba nti Pulezidenti Museveni oluvannyuma lw’akaseera yamuyita wamu n’omulamuzi Bamugemereire, beegeyeemu ku bikwata ku Mayiro. Wabula ne bamutegeeza nti ebyazuulibwa baabimuwa nga bwe byali nga ne mu lukiiko lw’ababaka ba Palamenti abapya abaalondebwa olwatuula e Kyankwanzi, baddamu okukikkaatiriza nti obwannannyini ku ttaka, ddembe lya buntu.
Okusinziira ku Owek. Ssebunnya, oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okugaana okukkiriziganya n’ebyo akakiiko k’Omulamuzi Bamugemeirwe bye kaazuula, ategeka okuteekawo akakiiko akalala kaddemu kanoonyereze ku mivuyo gy’ettaka.
Ono yawadde Minisita Nabakooba n’omumyuka we Mayanja amagezi, okusooka beetegereze ensonga y’ettaka lya mayiro era baleme kukkiriza kugendera ku bigambo bya muntu omu nga Pulezidenti Museveni, okuwera enkola eno.
“Nandyagadde nnyo Minisita Nabakooba bw’aba agamba nti mayiro mbi era eremesa enkulaakulana, atuweeyo eby’okulabirako. Atulage ebiri mu kitundu ky’amambuka awali abantu abatono abalina mayiro tugeraageranye ne Buganda tulabe ani akulaakulanye?” Owek. Ssebunnya bwe yakkaatiriza .
Ono yasabye Pulezidenti Museveni yeetegeereze alipoota gye baamuwa ey’Omulamuzi Bamugemereirwe bw’abeera ayagala okumalawo emivuyo egiri ku ttaka, kuba gireeteddwa banene mu gavumenti abakozesa poliisi n’amagye awamu ne kkooti okugobaganya abantu.
Owek. Ssebunnya yannyonnyodde nti yawandiikidde Pulezidenti Museveni ng’amusaba okwesonyiwa ettaka lya mayiro kuba lijja kwongera okumukyayisa mu Buganda.