Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina ekitakabanira enfuga eya demokulaasiya mu ggwanga eya Citizen’s Coalition for Electoral Democracy in Uganda (CCEDU), ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde kyategeezezza nti obubbi obwali mu kalulu ka 2021 kwali tekubangawo.
Ssentebe wa bboodi y’ekibiina kino, Miria Matembe, yategeezezza nti okulonda okuli okwa Pulezidenti, ababaka ba Palamenti wamu ne Sipiika waabwe kyali kuswaza eri enfuga ya demokulaasiya wamu ne bannayuganda.
Okusinziira ku Miria Matembe essiga lya gavumenti lyeddiza okulonda era ye yasalawo ku ani alina okwesimbawo era n’obululu bw’alina okufuna.
“Essiga lya gavumenti lyeddiza okulonda akulira essiga lya Palamenti mu kulonda alina okubeera Sipiika wa Palamenti y’e 11 era kino kyayongera okulaga nga gavumenti bwe yeddiza byonna ebikwata ku kulonda.” Matembe bwe yagambye.
Matembe agamba nti mu kalulu akawedde amannya ga beesimbyewo gaatabulwa ku bukonge obulondebwawo ate ne baagenti b’abeesimbyewo bali batono era tewaali na kusomesa bantu ku kulonda.
Omukwanaganya wa CCEDDU, Charity Ahimbisibwe, yalaze ng’omuwendo gw’abalonzi ogwali omutono bwe gwalaga nti abantu baali tebeesiga binaava mu kulonda kuno.
Ahimbisibwe agamba nti effujjo n’okutulugunya ab’ebyokwerinda kwe bakola ku bannamawulire ng’akulira National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi, agenda ku kitebe ky’amawanga amagatte, byayongera okulaga engeri eddembe ly’obuntu gye lirinnyirirwa mu ggwanga.
CCEDU yawadde amagezi wabeewo okusomesa n’okubangula abakungu b’akakiiko k’ebyokulonda okwewala ensobi ezaakolebwa okuddamu okubaawo.
Bano era baasabye ab’ebyokwerinda okwewala okuyingira mu by’okulonda era ne basaba abalonzi okwewala okuweebwa enguzi nga babasaba akalulu.