
Bya URN
Poliisi y’ebidduka emalirizza okunonyereza kwayo kukiki ekyavaakoa akabenje omwafiira munna People Power Rita Nabukenya.
Abadde akulira
okunonyereza kuno, Pamela Kentaro yagambye URN nti alipoota yamazze dda
okugiwaayo eri Ssabapoliisi Martin Okoth Ochola.
Nabukenya, 28, yafa oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje e Nakawa omwezi
oguwedde nga 23 bweyali ku boda-boda ng’ava
e Mukono okudda ku Buganda Road, akulira People Power, Robert Kyagulanyi
gyeyali mu kkooti ku musango g’okukuba olukungaana olumenya amateeka.
Abeerabirako n’agaabwe bategeeza nti kabangali ya poliisi yatomera boda boda Nabukenya kweyali ng’ekigenderedde.
Wabula kino kyawakanyizibwa nnyo omwogezi wa poliisi Fred Enanga eyagamba nti ono yafa oluvanyuma lwa boda boda kweyali, okutomeragana n’endala.
Poliisi yasuubiza okufulumya akatambi akaakwatibwa kamera z’okunguudo
wabula oluvanyuma Enang yeekyusa n’ategeeza nti olunaku olwo kamera zaali
tezikola.
Kyokka Kentaro yaganye okwogera kiki kyeyazuula kubanga Ochola yeyamutuma era gweyakwasizza alipoota.