![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2019/11/Meddie-Kaggwa.png)
Musasi Waffe
Meddie Kaggwa, abadde akulira akakiiko akakola kuddembe ly’obuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission afiridde muddwaliro lya Case mu Kampala. Kigambibwa nti Kaggwa abadde agenda okwetaba mu kukubaganya ebirowoozo ku ddembe ly’abaana mu Uganda azirikidde mu motokaye okulirana enkulungo ye Mulago. Addusiddwa ku ddwaliro lya Case n’atwalibwa mukasenge ak’abali obubi ng’eno gyafiiridde akabanga katono ng’amaze okutwalibwayo. Kaggwa ng’ono yaliko omubaka wa palamenti saako minisita mu gavumenti ya Museveni, abadde munnamateeka ng’alina ddiguli bbiri. Wakuziikibwa enkya ku saawa munaana e Mpigi.