
Bya Ssemakula John
Kampala
Uganda ekakasizza nga bw’ezudde abantu mwenda (9) nga balina ekirwadde kya Omicron ekyeyubudde okuva mu kawuka ka COVID-19, ensonda mu Minisitule y’ebyobulamu zikakasizza ensonga eno.
Ekirwadde kino ekya Omicron kyasooka kuzuulibwa mu ggwanga lya South Africa ne Botswana mu mwezi gwa Novemba.
Okuva lwe kaazuulibwa akawuka kano katakuzza abakugu b’ebyobulamu emitwe ng’ebyakazuulibwa biraga nti eddagala lyonna eririwo telikakolako ate kasaasaanira ku misinde mingi nnyo.
Akawuka kano kawalirizza e amawanga agamu okugaana abantu abava mu mawanga gye kali okugenda mu nsi zaabwe nga batya nti bayinza okukasiiga bannansi baayo.
Akawuka kano kazuuliddwa mu mawanga okuli; Botswana, Lesotho, Eswatini, Namibia, Zimbabwe ne Malawi ate nga waliwo n’amawanga g’abazungu gye kasangiddwa okuli Bulaaya, Bungereza, America ne Canada.
Bino we bijjidde nga Uganda etegeka okuggulawo eggwanga lyonna ku ntandikwa y’omwaka gwa 2022 era ekirindiriddwa kwe kulaba oba nga linaggulwawo









