Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya ‘National Resistance Movement (NRM), Dr. Tanga Odoi, alangiridde Minisita omubeezi ow’abakozi, Mwesigwa Rukutana ku buwanguzi bw’ akamyufu k’omubaka w’e Rushenyi oluvannyuma lw’okuwangula Kabasharira bwe babadde ku mbiranye n’obululu 20 bwokka.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Mwesigwa-Rukutana-Gambuuze.jpeg)
Dr. Odoi ono yamulangiridde ku Lwakusatu ku kitebe ky’ekibiina mu Kampala oluvannyuma lw’okuddamu okubala obululu.
Akulira eby’okulonda e Ntungamo, Maria Mirembe Baitwa yali alangiridde Naome Kabasharira ku buwanguzi, bwe yafuna obululu obusinga mu kulonda okwasooka nga yali afunye obululu 24,006 ate nga Rukutana yali afunye obululu 23,966.
Mu kalulu kano, Bob Karabayi yafuna obululu 2,266, Nicholas Niwahereza yalina 1,202 so nga ate Norman Kashereka yafuna 346.
Bino Rukutana yabigaana era ne yeekubira enduulu eri akakiiko k’ekibiina era Ssentebe waako Dr. Tanga Odoi n’alagira obululu buno buddemu okubalibwa.
Odoi yagambye nti obululu bwe babaze bulaga nti Rukutana yawangudde n’obululu 25310 ate nga Kabasharira yafunye obululu 25290 ng’enjawulo yabadde ya bululu 20 bwokka.
Okusinziira ku byavudde mu kuddamu okubala obululu, Bob Nahabwe yafunye obululu 2270, Nicholas Niwahereza 129, Elia Rwagara Mwesigwa 256 ate Norman Kashereka Beingana n’afuna 350.
“Nangiridde Mwesigwa Rukutana eyafunye obululu obusinga obungi n’ebitundu 46.27 ku 100 era n’awangula okukwata kkaadi ya konsitityuwensi y’e Rushenyi mu Palamenti.” Odoi bw eyategeezezza.
Kinajjukirwa nti akamyufu kano kalimu emivuyo era gye byaggweera nga Minisita Rukutana asimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa okugezaako okutta Daniel Rweburingi wamu n’okwonoona ebintu wadde ng’oluvannyuma yayimbulwa ku kakalu ka kkooti.
Sabbiiti ewedde, abawagizi ba Kabasharira baagobaganye ne poliisi nga bawakanya eky’okulwawo okulangirira ebyavudde mu kuddamu okubala obululu.