Bya Musasi waffe
Mawogola
Abadde avuganya ku bbendera y’ekibiina kya NRM mu Mawogola North era muwala wa Minisita Sam Kuteesa, Shartis Musherure, awakanyizza ebyavudde mu kamyufu k’eggulo ng’alumiriza muganda wa Pulezidenti Museveni, Aine Kaguta Sodo nti, akalulu yakakuttemu.
Godfrey Aine Sodo Kaguta alangiriddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM ku buwanguzi n’obululu 17343 munne Musherure yafunye 16104 ate Salim Kisekka n’akung’aanya 4274.
Oluvannyuma lw’okulangirira Sodo, Mushereru yalagiriddewo nti abbiddwa era n’agamba nti okwemulugunya kwe agenda kukuteeka mu buwandiike era asuubira abakulu okukutunulamu.
“Akalulu kabuzeemu obwerufu era tekabadde ka bwenkanya. Sigenda kukkiriza bivuddemu. Tetuwanguddwa wabula batubbye.” Mushereru bwe yagambye.
Ebimu ku bintu Mushereru byawakanya ky’ekyokuba ng’ebyavudde mu byalo mukaaga byalaze nti teyafunyeeyo wadde akalulu akamu ng’obululu bwonna bwatwaliddwa Aine, ky’agamba nti tekisoboka mu kalulu ak’amazima.
“Ng’enda kuwaayo okwemulugunya kwange naddala ku byalo bino omukaaga byesaamatidde era nsuubira nti akakiiko k’ebyokulonda kajja kuwa ensala yaako ku nsonga eno.”Mushereru bwe yasuubizza.
Ono alumiriza nga bweyafunye obululu 345 ku kyalo ky’e Kikoma kyokka ate Dr. Tanga Odoi n’alagirira baddemu balonde ng’abantu baabadde baamaze okugenda.
Okusinziira ku Mushereru kino kyakoleddwa mu byalo ebiwerako kyabagamba nti lyabadde kkobaane.
“Kisoboka okufuna abalonzi abatono naye obutafuna wadde akalulu akamu, kitegeeza nti tulinga abataalonze era twetaaga okumanya lwaki. Mushereru.
Yagumizza abawagizi be nga eno bweri entandikwa era ng’ajja kulwana masajja okutuuka nga bafunye obuwanguzi bwabwe obwabanyagiddwako.
Mushereru bweyabuuziddwa oba ng’anajja mu kalulu kano nga talina kkaadi ya kibiina, yagambye nti obudde bukyali okusalawo ku nsonga eno.
Akalulu kano kaalina kubeerawo nga 4/09/2020, naye olw’emivuyo n’okulwanagana wakati w’enjuyi zino zombi, kaayongerwayo okutuuka olunaku lw’eggulo.
Kino kyawaliriza abakulira eby’okwerinda okusisinkana enjuyi zombi okusala amagezi akalulu kano kalondebwe mu mirembe.
Ku lunaku lw’akalulu, amyuka Ssaabaddumizi wa Poliisi, Sabbiiti Muzeeyi awamu n’akulira bambega Grace Akullo, baasiibye Mawogola okulaba nga batangira ebiyinza okutabula akalulu.
Akalulu kano ke kamu kaawaliriza Pulezidenti Museveni okuvaayo n’atangaaza nga bwe yali takaliimu era nga wadde abakalimu bombi ba ng’anda ze naye yabalabula obutakozesa linnya lye.