Bya Ssemakula John
Kampala
Ssentebe w’ekibiina ki NRM, Pulezidenti Yoweri Museveni alabudde abeesimbyewo, abawagizi babwe wamu n’abantu abeetegese okubba akalulu mu kamyufu k’ekibiina ku Lwokutaano luno nti tagenda kubaganya.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/MUSEVENI.jpg)
Kino kiddiridde poliisi okunokolayo ebifo 15 omusuubirwa okubeera obuvuyo n’efujjo mu kalulu, mubino kuliko; Ssembabule, Kassanda, Kazo, Bundibugyo, Sironko, Sheema, Mbale, Hoima, Koboko, Adjumani, Kashongi, Kampala, Wakiso ne Hoima mu kalulu akagenda okukubwa enkya ku Lwokutaano.
Bino Museveni yabitadde mukiwandiiko kye yafulumizza ku Lwokuna nategeeza nti obutabanguko wamu n’obuvuyo tekirina gwekiyamba.
Museveni yagambye nti, “NRM bweyatwala obuyinza mu 1986, twakomya okuyingirira eddembe ly’abantu okwesalirawo ku ggwe baagala okubakiikirira. Twakomya enguzi, obuvuyo, obusososoze mu mawanga, okukozesa olulimi olukyamu wamu n’okukyusa ebiva mu kalulu, ekimu ku bino kiba kiraga nga akalulu akatali ka bwenkanya.”
Olw’ebikolwa bino Museveni agamba abantu bagyibwako eddembe ly’okufuna abakulembeze be baagala kubanga baweebwe bebatalonze era nga emirundi egisinga abafunye obuyinza mu ngeri eno bakola ku bigendererwa byabwe so ssi bizibu bya bantu.
“Abantu abaagala okufuna wofiisi zino nga bayitira mu makubo gemenye waggulu, balabe ba Uganda era beetaaga kuwangula,” Museveni bweyanyonyodde.
Museveni yagasseeko nti ye yagaana eby’okukozesa okutiisatiisa n’obuvuyo ku bannayuganda kubanga ssi baddu.
Museveni agamba nti tasobola kukwata mitwalo 30 nagiwa mulonzi kubanga tekirina wekimuyambira okujjako okumukuumira mu bwavu.
Ono yalagidde ab’ebyokwerinda okukwata abo bonna abagulirira abantu wamu n’okuleetawo obutabanguko.
Awadde amagezi abeesimbye mu kamyufu okukomya mbagirawo obuvuyo era nalagira ababaka ba Pulezidenti mubitundu byonna (RDC) awamu nabakulira ebyokwerinda okuyingira mu nsonga eno mu bwangu.
Bano nabo Museveni yabalabudde nti singa embeera ebaleremerera ajja kwefunira amawulire okuva wansi mu bantu era nabo abeekolereko olw’okulemwa okukola omulimu gwabwe.