Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya National Resistance Movement kitandise okufulumya ebimu ku byava mu kamyufu ak’omubaka omukyala ow’ekibuga ky’e Mbale era ng’ebyakafulumizibwabiraga nti Lydia Wanyoto akulembeddwa Connie Galilwango.

Kino kyaddirira abakulira eby’okulonda mu kibuga Mbale okuweereza ebyali bivudde mu kulonda eri abakulu ku kitebe ky’ekibiina e Kyaddondo, basobole okutaawuluza enkaayana wakati w’oludda lwa Wanyoto ne Galilwango kuba buli omu yali agamba nti ye yawangudde.
Wadde akalulu kano kalimu abeesimbyewo abawera bana okuli; Lydia Wanyoto, Omubaka aliyo Connie Nakayenze Galilwango, Namasaba Jalia ne Shadia Luwungule, naye okuvuganya okusinga kuli wakati wa Galilwango ne Wanyoto.
Okusinziira ku amyuka ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM, John Arimpa, ebyakabalibwa okuva mu byalo 133 ku ebyo 389 ebyalondebwamu, biraga nti Wanyoto akyakulembedde Galilwango wabula ng’ebitundu tebinnaggwaayo.
Arimpa ategeezezza nti Wanyoto alina obululu 28,601 ate Galilwango alina 18,872, Namasaba 2,824 ate Luwangule akyasembye n’obululu 1,462.
Wiiki eno Galilwango yavaayo n’alabula okwesimbawo ku lulwe singa abakulira eby’okulonda banaagezaako okukyusa obuwanguzi bwe.
“Nafuna obuwanguzi bwange naye kati lwaki bagezaako okubunzigyako mu ngeri y’amakwetu? Njagala okubakakasa nti nnina amaanyi g’abantu, olina ssente naye tojja kusobola kuwangula bantu.” Galilwango bwe yagambye.
Akamyufu kano kaalimu vvulugu, okulwanagana n’okubba obululu nga buli ludda lwali lulumiriza lunaalwo okubba obululu era nga Wanyoto yali yakakasa bannamawulire nga bwe yamala edda okuwangula akalulu kano.
Mu kamyufu ka 2015, Galilwango yawangula Wanyoto n’obululu 71,130 ate Wanyoto yalina 48,390, ekirindiriddwa kati kwekulaba ani anaawangula akalulu kano oluvannyuma lw’okubala ebivudde mu kalulu konna.








