Bya Musasi waffe
Mitooma
Abatuuze ku kyalo Rwakikambuzi mu Mitooma basattidde oluvanyuma lw’okukeera nga luggya lwa munnabwe eyeesimbyewo Arthur Kazoora nga musuliddwamu Ssanduuke y’abafu nga eriko ne ssente.
Kazoora nga ayagala kukikirira Ruhinda South mu Palamenti, yategeezezza nti balirwana be bebamuyise ku makya ga leero ku Lwokubiri okulaba ekikolwa kino ekya Sitaani era nga kyabulogo.
Ono yanyonyodde nti ku Ssanduuke kubaddeko ssente z’obupapula bw’enkumi ebbiri okugyetoola nga ziwera emitwalo musanvu mu enkumi nnya (74000).
Kino RDC we Mitooma Ada Nasiima yakikasizza nategeeza nti batandise dda okunoonya ali emabega w’ekikolwa kino asobole okuvunaanibwa.
Nisiima yagasseeko nga abatuuze be Rwakikambuzi bwebamukubidde ne poliisi era bweyatuusewo nasanga nga mu maka ga Kazoora musuliddwamu Ssanduuke y’abafu.
“ Ekikolwa kino bakikoze okutiisatiisa bantu obutalonda naye mubeere bakakafu nti ku Lwokutaano tugenda kulonda era wakati wa bonna abeesimbyewo tugenda kufunako omuwanguzi omu,” Nisiima bweyalambuludde.
Ono yalabudde abeesimbyewo okukomya ebikolwa nga bino kubanga eno ssi y’engeri entuufu ey’okufunamu obuwagizi era nasaba ne Kazoora okusigala nga mugumu.
Kazoora yategeezezza nti talina kyatidde kubanga musajja mukkiriza, era nasuubizza abawagizi be okuwangula akamyufu ka NRM ku Lwokutaano lwa wiiki eno.
Oluvanyuma poliisi Ssanduuke ne ssente ebitutte okwongera okunoonyereza abali emabega w’ekikolwa kino.
Abavuganya mu kamyufu ke Ruhinda South kuliko; Arthur Kazoora, Ambrosio Byamugisha Muhoozi n’omubaka aliyo Capt. Dononzio Kahonda.