Bya Ssemakula John
Ssembabule
Akakiiko k’ebyokulonda mu NRM akakulirwa Dr. Tanga Odoi kalangiridde olwaleero ku Lwokutaano nga bwekayimiriza okulonda kw’ akamyufu mu Mawogola North oluvanyuma lw’obukubagano n’okulwanagana mu bawagizi ba beesimbyewo okweyongera.
Mu kalulu kano muwala wa Minisita w’ensonga z’ebweru Sam Kuteesa Shartsi Musherure, ali ku mbiranye ne muganda wa Museveni Godfrey Aine Kaguta Sodo nga buli omu ayagala kukwata bbendera asobole okukiika mu palamenti mu kalulu ka 2021.
Mawogola West ke kamyufu ak’okubiri okwongezebwayo mu Ssembabule nga akasoose kabaddi ka Mawogola West akalimu omubaka Joseph Ssekabiito gyali mukuttunka ne Anifa Kawooya.
Abawagizi ba babiri bano bazze balwanagana era nga Kawooya alumiziddwa ekintu kyagamba nti Ssekabiito akirinamu omukono.
Eggulo ababiri bano bayitiddwa Dr. Tanga Odoi okukakkanya embeera wabula Ssekabiito yalabudde nga bwewaliwo ekkobaane okuyisaawo Kawooya era nalabula okwesimbawo nga omuntu singa tafuna bwenkanya.
Ku kifo ky’omubaka we Lwemiyaga, Joy Kabatsi ne Theodore Ssekikubo nabo abawagizi babwe batadde ekitundu ku bunkenke.
Embeera eno yewalirizza amyuka Ssaabadduumizi wa poliisi Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi okugumba mukitundu kino okulaba nga aziyiza embeera okusajjuka.
Okuyimiriza okulonda kwa Mawogola West, kiddiridde abawagizi mu nkambi ya Musherure ne Kaguta okulwanira mu lukiiko ku kitebe ky’ eggombolola ye Lugusuulu nga buli ludda lulumiriza lunaalwo okwagala okucankalanya enkalala z’abalonzi.
Omuwandiisi w’ekibiina Godfrey Katokozi lweyayita enjuyi zonna zikaanye ensonga zamulemerera era abawagizi ba beesimbyewo tebalinda lukiiko kuggwa nebalwanagana oluvanyuma lwa Musherule okutegeeza nga Kaguta bweyatandise edda okwagala okubba akalulu kano.
Embeera yatabukira ddala Kaguta bweyatuuka nga olukiiko lugenda mu maaso nalumiriza Omuwandiisi obutamuyita mu luikiiko luno ate nga naye yesimbyewo.
Poliisi abawagizi bagisinza amaanyi era tewali kyamanyi kyeyakola olw’okuba abamu ku beesimbyewo baali bakumibwa eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga.
Ssentebe w’ekibiina kino e Ssembabule Sam Kuteesa yategeezezza nga efujjo lino bweriva ku Kaguta alemeddwa okunoonya akalulu kanadda kulagira abawagizi be okukola efujjo.