Bya Musasi Waffe
Akulira okulonda mukibiina ki National Resistance Movement (NRM) ayimirizza okulonda kw’akamyufu k’omubaka wa Bukono mu palamenti olw’okutemula agenti wa Namuganza.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Namuganza-703x422-1.jpg)
Odoi bino yabyogedde ku Lwakutaano, nategeeza nga Agenti wa Namuganza bweyattiddwa abantu abatanaba kutegeerekeka.
Ono yagaanye okwasanguza ammanya g’omugenzi naye nakakasa nga bwabadde Agenti wa Minisita omubeezi ow’ebyettaka Persis Namuganza.
Namuganza akyalwana okulaba nga yeddiza bbendera y’ekibiina oluvanyuma lw’okumalako ekisanja kino nga talina kibiina.
Odoi yanyonyodde nti, “Tusindise poliisi ekwate omuntu yenna eyenyigidde mu ttemu lino.”
Dr. Odoi kati ali e Bushenyi yategeezezza nti okutwaliza awamu okulonda kubadde kwa mirembe mu bifo ebisinga newabadde wasuubirwa obutabanguko.
Ku makya ga leero, Odoi yakadde kwongezaayo okulonda kwa kamyufu k’omubaka omukyala n’okwa Mawogola North olw’okulwanagana mu bawagizi.