Mawogola
Bannakibiina kya National Resistance Movement, abaakedde okulonda ababaka okuli owa Mawogola North ne Mawogola South, tebajjumbidde kulonda anaakwata kkaadi ku kifo ky’omubaka omukyala.
Wadde ng’okusooka abalonzi bazze mu bungi wabula obwedda buli amala okulonda ababaka ba kositityuwensi nga badduka bajaganya era tebalinze kulonda mubaka mukyala.
Akakiiko k’ekibiina ak’ebyokulonda kaalagira abalonzi basooke balonde ababaka ba Kositityuwensi n’oluvannyuma balonde Omubaka omukyala, wabula kino kumpi tekisobose.
Ekifo ky’omubaka omukyala kibadde kyesimbyeko Mary Begumisa, Jovanice Twongyeirwe ne Phoebe Arinaitwe era ng’okulonda kubadde mu bifo musanvu byokka ku ebyo 17 ebironderwamu mu kitundu kino.
Ebibadde byakafunibwawo ku kifo ky’omubaka omukyala biraze nti Mary Begumisa abadde akyakulembedde banne.
Eyakuliddemu okulondesa mu ggombolola y’e Mijwala, John Byansi ategeezezza nti, obwedda abantu abayita okudda balonde Omubaka omukyala naye nga tebamufaako.
Byansi agamba nti kati agenda kukola alipoota agiwe akulira eby’okulonda mu NRM alabe eky’okukola kubanga abadde tasobola kukaka bantu kusimba nnyiriri.
Omu ku balonzi b’e Byesika, George Muheirwe, mu Mawogola North ategeezezza omukutu gwa URN nga abalonzi bwe babadde beesunze akalulu ka konsitityuwensi okusinga ku k’omubaka omukyala kubanga babadde bakooye obuvuyo mu kulonda kw’ekitundu kino era nga babadde balina gwe baweereza obubaka.
“Akabakyala tetukeetabyemu lwa nsonga tubadde n’obulumi obwa MP nga bwe businze okutunuluma era bano abalala tebabadde mu birowoozo byaffe.” Muheirwe bw’ategeezezza.
Ono yagasseeko nga bwe bamaze ebbanga nga balonda naye Omubaka waabwe ow’ekitundu naye nga balangiriramu mulala nga leero babadde baliko omuntu gwe baagala okuweereza obubaka era nga bakakasa nti abufunye.
Akamyufu ka Mawogala South ne North awamu n’okulonda omubaka omukyala bwayongezebwayo okutuuka olunaku lwaleero olw’obuvuyo n’okulwanagana wakati w’abawagizi ku njuyi ez’enjawulo mu kunoonya obululu.
Ku bifo ebironderwako okuli; Byesika, Kyabelesa, Kashongi A ne B, nga byonna bisangibwa mu ggombolola y’e Kiwanda, abalondesa bakkaanyizza kwegayirira abantu balindeko okugenda nga tebabawuliriza.
Obwedda buli lwe balangirira nti Godfrey Aine Kaguta Sodo akulembedde Shartsi Musherure Kuteesa ne Salim Kisekka olwo ng’abantu babuuka wakati mu ssanyu era nebelema okulonda Omubaka omukyala.
Ku nsonga eno omulonzi w’e Kashongi Grace Kashendwa, agambye nti ababadde beesimbyewo ku kifo ky’omubaka omukyala tebabamanyi ate era baalemwa n’okutuuka ku bantu nga banoonya akalulu.