Bya Nabuwufu Fridah
Masaka
Avuganya ku bwapulezidenti, Joseph Kabuleta, ng’ono talina kibiina kw’ajjidde, olunaku lw’eggulo yalemereddwa okunoonya akalulu mu disitulikiti y’e Kyotera, Rakai ne Lwengo nga bwe yabadde ategese.
Bannamawulire mu kitundu kino bakedde naye z’agenze okuwera essaawa kkumi (10) ez’olweggulo nga tewali kabonero kalaga nti Kabuleta waakulabikako.
Woofiisi ya Kabuleta ekwasaganya kkampeyini ze, yategeezezza nti waabaddewo ensonga ezaabadde tezinnamalirizibwa mu Kampala nga Kabuleeta ze yabadde asoose okukolako.
Ate ye omukwanaganya wa kkampeyini ze, Godwin Matsiko, ategeezezezza nti baaluddewo okutegeeza abawagizi baabwe mu kitundu kino naye Kabuleeta yabadde alina leediyo z’alina okubeerako mu Kampala nga kyabadde tekisoboka kukwata budde.
Kabuleta si ye yekka eyaakasazaamu enteekateeka z’okukuba kkampeyini mu disitulikiti zino ng’eyasooka yali Willy Mayambala eyalemesebwa olw’obuzibu bw’ebyenfuna wadde ng’ono yaddamu okusaba akakiiko k’ebyokulonda okumukkiriza addemu anoonye akalulu mu kitundu kino.
Bino we bijjidde ng’abeesimbyewo naddala ku mutendera gw’Obwapulezidenti bali mu kutalaaga ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga banoonya akalulu akayinza okubatuusa ku ntebe ennene.