Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Tibuhaburwa Kaguta Museveni asabye bannayuganda okwesonyiwa ebitagenze bulungi era baddeyo bakole batwale eggwanga mu maaso.
“Mbayozaayoza olw’okwetaba mu kalulu kano. Mwalabye engeri akalulu k’Obwapulezidenti n’ababaka bwekwabadde okw’emirembe. Okulonda kwawedde. Muddeyo mukole, tuleme kwonoona budde nga tuyomba olw’ebyo ebyabadde mukulonda,” Museveni bwe yagambye ku Lwokuna nga ayogera ku by’abaana okudda ku ssomero.
Pulezidenti Museveni yategeezezza nti kati kaseera ka bannayuganda kukola olw’ensonga nti obudde bw’akalulu bwaweddeko.
Kinajjukirwa nti, Minisita w’ensonga ez’ebweru Sam Kuteesa naye yavaayo omwezi oguwedde nga asisinkanye b’ambasada b’amawanga ag’enjawulo nabannyonnyola ku kulonda okwali kuwedde era nasaba bannayuganda okuddayo bakole okulaakulanya ensi yaabwe.
“ Tufunye obubaka obutuyozaayoza, abatunuulizi b’okulonda bayogedde ku kulonda kwaffe nga okwabadde okw’emirembe era okw’amazima era ebyavuddemu biraga okusalawo kwa bannayuganda era akaseera katuuse tuddeyo tukole era tukakasa nti waliwo byetuyize naddala ku kuggumiza demokulaasiya mu ggwanga,” Kuteesa bwe yagambye.
Ebigambo bya Kuteesa byaddirira Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu okugaana ebyava mukulonda nga agamba nti ssi bituufu era akalulu kabbibwa.
Ku ntandikwa ya sabiiti eno, bannamateeka ba Kyagulanyi baddukidde mu kkooti ensukkulumu okugisaba esazeemu obuwanguzi bwa Museveni era eragire okulonda kuddibwemu.
Kyagulanyi bavunaana mu mpaaba ye kuliko; Pulezidenti Museveni, Ssaabawolereza wa gavumenti wamu n’akakiiko k’ebyokulonda kagamba nti kadibaga okulonda.
Mu kalulu kano, Yoweri Museveni mweyalangirirwa yafuna obululu 6,042898, buno bukola ebitundu 58.38% ate Kyagulanyi eyakwata eky’okubiri nafuna obululu 3631437.