Bya Musasi Waffe
Kampala
Munnamateeka era munnakibiina ki ‘National Unity Platform (NUP)’ Muwada Nkunyingi, awandiikidde akakiiko k’ebyokulonda nasaba aweebwe ebiwandiiko ebiraga obuyigirize bwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni byayakozesa okwesimbawo mu kalulu ka 2016.
Mukiwandiiko kyawaddeyo eri akakiiko k’ebyokulonda eya nga August 24, Muwada agamba nti munnayuganda omulonzi era nga alina eddembe okumanya ebikwata bonna abaagala entebe y’obwapulezidenti.
“Akatundu 4(3)(c) aka ‘Parliamentary Elections Act, 2005′ kalaga nti omuntu okufuuka omubaka wa Palamenti alina okuba yayita siniya ey’omukaaga (S.6) oba nga alina obuyigirize obugyenkana” ekiwandiiko kya Muwada bwekisoma.
Muwada yanokoddeyo Akawaayiro nnamba 41 aka Ssemateeka wa 1995 ne tteeka lya ‘Access to Information Act’ erya 2012, eriwa omuntu olukusa okuweebwa amawulire oba ebiwandiiko ebikwata kwekyo kyagala okumanya.
Ono ayagala akakiiko k’ebyokulonda kamuwe empapula zekasinzirako okukkiriza Pulezidenti Museveni okwesimbawo mu kalulu ka 2016.
Kino kiddiridde akakiiko k’ebyokulonda okufulumya empapula za Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine eri munnamateeka omu eyazisaba.
Nkunyingi ku kiwandiiko kyatutte mu kakiiko ataddeko obukakafu obulaga nti asasudde ssente emitwalo 2 egilagirwa mu mateeka okusobola okufuna ebiwandiiko bino.
Kati ekirindiriddwa kwekulaba oba empapula za Pulezidnti Museveni zinaamuweebwa.