Bya Ronald Sserwadda
Kampala
Akulira ekibiina kya Alliance For National Transformation era nga y’akikwatidde bbendera, Rt.Gen Mugisha Muntu, agaanye okwekebeza Ssennyiga Corona ng’agamba nti tekiri mu mateeka.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/Muntu-1024x768.jpg)
Akakiiko k’ebyokulonda kaasaba buli ayagala okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga n’abantu 9 abagenda okubasemba okusooka okwekebeza Covid-19, okwewala okusiiga abalala singa wabeerawo alina obulwadde buno.
Ku beesimbyewo n’abantu baabwe, akakiiko kaakazuulamu abantu 3 abalina Covid-19.
Mugisha Muntu ategeezezza nti mu mateeka g’alina okutuukiriza okwesimbawo, ekyokukebeza Covid-19 tekiriimu.
“Tuli bantu abagoberera amateeka era gonna agalambikiddwa obulungi omuli n’ago ge tutakkaanya nago tugagoberedde, naye okwekebeza twagaanye kubanga balina ebigendererwa ebikusike. Kati baagala okutugamba nti abantu bonna be basisinkana babeera bamaze okubakebera? Ne be basanga ku nguudo, ne be basisinkana ekiro? Twabadde mu kuwandiisa babaka ba palamenti n’abalala, bo nga tebaabakebedde? Kya njawulo ki ku ffe?Tulina obukookolo bwaffe (Mask), ne sanitayiza bye tugenda okukozesa naye okwekebeza nedda.” bw’ategeezezza.
Omubaka omukyala owa Kasese, Winnie Kiiza era omu ku bagenda okusemba muntu ku by’okwesimbawo agamba nti naye teyeekebezza nti yabadde tasobola kwekebeza kubanga enkola eno eyagala kuleetawo busosoze mu bulwadde bwa Covid.
“Akakiiko kalina buyinza ki obutulagira okwekebeza? Bwe tubasaba ebbaluwa z’abantu bonna abeesimbyewo ddala basobola okuzituwa? Ebyo tetusobola kubikkiriza kubanga tetulina tteeka lye tumenye.” Winnie Kiiza.
Mugisha Muntu agenda kwewandiisa ku ssaawa mwenda ogwemisana.
Ajjidde ku mulamwa gwa kukyusa mbeera z’abantu mu ggwanga naddala okuteekawo obukulembeze obuteeka essira ku biruma abantu.