Bya Ssemakula John
Kampala
Omuloodi wa Kampala, Erias Lukwago addukidde mu kkooti enkulu ng’ayagala eyimirize ekiragiro kya ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mwe yaweredde kkampeyini mu disitulikiti 11 okuli; Masaka, Kampala ne Wakiso, okutangira Ssennyiga Corona ky’agamba nti kimenya Ssemateeka.
Lukwago, mu mpaaba ye gy’akoze ng’akulira ekibuga kya Kampala, agamba nti ekiragiro kino kimenya Ssemateeka kubanga yayise buyisi lukung’aana lwa bannamawulire nga talina tteeka lyonna kwe yeesigamye.
Ono agamba nti ekiragiro kya Byabakama kimenya Ssemateeka awa abantu olukkusa okukung’aana n’okwetaba n’abantu abalala.
Omuloodi annyonnyodde nti ebiragiro bino bigenda kukaluubirira poliisi okubikwasisa kubanga tewali kibonerezo kirambikiddwa mu mateeka ekirina okuweebwa oyo abeera akwatiddwa ng’ajeemera ekiragiro kino.
Lukwago agamba nti buli omu akimanyi nti ekirwadde kya Ssennyiga Corona weekiri era ng’abeesimbyewo beetegefu okugondera ebiragiro ebitangira Ssennyiga Corona nga batambuza kkampeyini zaabwe.
Fayiro y’omusango guno eweereddwa Omulamuzi Musa Ssekaana era nga gusuulibwa okuweebwa olunaku lw’okuguwulira akadde konna okuva kati.
Ku Lwomukaaga nga 26 Decemba 2020, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Omulamuzi Simon Byabakama, yayimirizza kkampeyini mu disitulikiti 12, Minisitule y’ebyobulamu z’egamba nti ekirwadde kizifunzizza.
Disitulikiti zino kuliko; Kampala, Mbarara, Kabarole, Luweero, Kasese, Kalungu, Tororo, Masaka, Wakiso, Jinja, Kazo ne Mukono.