Bya Ssemakula John
Wakiso
Omulamuzi omukulu owa Kkooti ento e Wakiso, afulumizza ekibaluwa ki bakuntumye eri omubaka era akulira ekibiina ki ‘National Unity Platform (NUP)’ Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), nga kimuyita okwewozaako ku misango gy’okujingirira ebiwandiiko.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Bobi-Kkooti.jpg)
Okusinziira ku kiwandiiko Kyagulanyi mu kkooti alina kulabikayo nga 16/09/2020 ku ssaawa 4 ez’okumakya.
Munnamateeka Male Mabirizi, yeyakubye Kyagulanyi mu kkooti nga agamba nti ebimu ku biwandiiko byeyawaayo kuliko; ebifu, ebimu bijingiririre ate nga n’ebirala yabikyuusakyusa ekikontana n’amateeka.
Ekibaluwa kino ekifulumiziddwa olwaleero ku Lwokubiri nga 1/09/2020 kiraga nti Kyagulanyi yewandisiza ku biwandiiko bikyamu bweyali yeesimbyewo ku bubaka bwa Palamenti obwa Kyaddondo East.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/bobi_wine_000_1j25ic-1024x1024.jpg)
Bino webigidde nga Kyagulanyi yakamala okulambulula kyeyayise ensobi ezaakolebwa era nga eky’emyaka gye okubeera nga gikyukakyuka kyava ku kyakukola bibuuzo bya P.7 nga ali mu P.6 olw’obuzibu kitaawe bweyalina mu by’ensimbi.
Kyagulanyi yalambuludde nga kano bwekali akakodyo ka Pulezidenti Museveni kubanga azze akakola ku bantu ab’enjawulo nga n’Omubaka Kizige mu 2006 yatwala Dr. Kizza Besigye mu kkooti nga agamba nti yajingirira ebiwandiiko naye era tekyakola.
Mabirizi azze yewera okulemesa Robert Kyagulanyi okwesimbawo mukulonda kwa bonna okwa 2021 nga agamba nti ono ssi mwesimbu kuvuganya ku bwapulezidenti bwaba aliko akabuuza ku buyigirize n’emyaka gye.
Abakulira ekibiina ki NUP bavuddeyo nebalaga okutya olw’abantu bebayise ba Mafia abongedde okusensera ekibiina kyabwe wamu n’okusomola ebyama nga wetwogerera waliwo bannakibiina abamaze edda okulaga nga bwebagenda okusala eddiiro badde mu NRM.
Abakulu kino bagamba nti bamaze dda okuteekawo akakiiko kanoonyereze ensibuko yaakyo era nebagumya ne bannakibiina okwongera okukyesiga.