Bya Ssemakula John
Kampala
Akakiiko akaateekebwawo okutumbula emipiira gw’ebigere ogw’ebika wamu n’okulaba ng’abawagizi badda mu kisaawe kino, katudde enkya ya leero okutema empenda, emipiira gino gisobole okutinta.
Enkya ya leero akakiiko kano katudde mu Bulange e Mmengo okulaba engeri gye kagenda okukolamu emirimu gyako.Ssentebe w’akakiiko kano, Julius Kabugo, ategeezezza nti emipiira gino baagala okulaba nga giganyula nnyo abavubuka nga bagyenyigiramu butereevu era basobole n’okutwala obukulembeze bw’omuzannyo guno yonna gye bali.
“Tutuunulidde bye tulina okukola okulaba nti kkampuni zikomawo zongere okutuwagira. Twagala okulaba ng’emipiira gino gisobola okuganyula abavubuka kubanga be baba n’amaanyi n’ebiseera okwenyigira mu muzannyo guno.” Ssentebe Kabugo bw’annyonnyodde.
Okusinziira ku Kabugo, bagenda kwogerezeganya n’abakulu b’ebika basobole okubayamba okukunga bazzukulu baabwe okwettanira okuzannyo guno.
Kabugo agamba nti bakkaanyizza okutuukirira kkampuni z’amawulire ez’enjawulo zibayambe okwongera okuzza ettutumu wamu n’ekitiibwa ky’empaka zino mu Buganda ne Uganda.
Ono agamba nti abantu bonna abali ku kakiiko kano abeesiga era akakasizza ng’omulimu guno bwe bagenda okugukolera mu budde obwabaweebwa
Kino kiddiridde Minisita w’Obwakabaka ow’abavubuka n’emizannyo, Henry Ssekabembe, okutongoza akakiiko kano Ssabbiiti ewedde n’akakwasa omulimu gw’okulaba nga kazza ekitiibwa ky’emipiira gy’ebika.
Akakiiko kano ak’abantu 9 nga kakulemberwa Julius Kabugo katandise emirimu gyako mu butongole era mu bbanga lya mwezi gumu kaakwanjula alipoota ku bye kazudde eri Minisita Ssekabembe. Empaka z’ebika by’Abaganda zeetabwamu ttiimu okuva mu bika 52 ebya Buganda era zaatandika okuzannyibwa mu mwaka gwa 1950.