Bya Ssemakula John
Kampala
Akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission- UHRC, kalabudde abeesimbyewo okukomya okujeemera ebiragiro bya Ssennyiga Corona.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/12/URHC.png)
Akola nga ssentebe w’akakiiko kano mu kiseera kino, Katebalirwe Amooti Wa Irumba agamba nti obuvuyo n’obukuubagano bw’abakuumaddembe n’abeesimbyewo kiva ku bannabyabufuzi kujeemera biragiro bya Ssennyiga Corona.
“Tubeegayiridde mugoberere ebiragiro bya minisitule y’ebyobulamu n’akakiiko k’ebyokulonda, tukendeeze ku bizibu bye tulina. Kivudde ku kujeemera biragiro bino kye kitabudde embeera ng’abamu ku bannabyabufuzi boogera lwatu nti tebagenda kugondera biragiro bya Ssennyiga Corona.” Katebalirwe bw’agambye.
Okusinziira ku biragiro by’akakiiko k’ebyokulonda, abeesimbyewo n’abawagizi baabwe balina okwambala Masiki, okwewa amabanga era nga tebalina kukuba nkung’aana zisussa bantu 200.
Akakiiko k’ebyokulonda era kaawera okuyisa ebivvulu mu kaweefube w’okugezaako okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona okusaasaana.
Kinajjukirwa nti omwezi oguwedde akwatidde ekibiina kya National Unity Platfor, Robert Kyagulanyi, yakwatibwa e Luuka bwe yali anoonya akalulu olw’okujeemera ebiragiro bya Ssennyiga Corona. Abalala abaakwatibwa poliisi olw’okujeemera ebiragiro bya Ssennyiga Corona kuliko n’alina kkaadi ya FDC, Patrick Oboi Amuriat.
Katebalirwe agamba nti kampeyini bwe ziba zaakutambula bulungi, bannabyabufuzi balina okugondera ebiragiro bino, kikendeeze ku kutyoboola eddembe ly’obuntu.
Ono asabye bannabyabufuzi okumanya nti ekirwadde kya Ssennyiga Corona kikyaliyo era bakole buli kimu okutaasa abawagizi baabwe.
Katebalirwe akoowodde abakuumaddembe nabo okukomya okukozesa amaanyi agasukkiridde nga bagumbulula abantu.
Ate ye Omukungu w’ekitongole kino, Aida Nakiganda, ategeezezza nti baakafuna emisango 15 egyemulugunya ku kutyoboola eddembe lyabwe okuva mu kwekalakaasa okwaliwo omwezi oguwedde era nga 13 ku gino gibatwaliddwa ab’enganda z’abagenzi abattibwa mu kwekalakaasa.
Emirala gikwata ku bantu abaakwatiddwa ab’ebyokwerinda ne babalemesa ab’enganda zaabwe okubalabako n’okwogera nabo.