Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Museveni, akakiiko k’ebyokulonda awamu ne Ssaabawolereza wa gavumenti, bawakanyizza okusaba kwa Munnakibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi, mw’ayagalira okukola ennongoosereza mu mpaaba. Kyagulanyi awakanya okulondebwa kwa Pulezidenti Museveni mu kalulu 2021.

Bano basabye kkooti egobe okusaba kuno kuba tewali budde.
Kyagulanyi ng’ayita mu bannamateeka abakuliddwa Medard Sseggona, basabye kkooti ebakkirize okukola ennongoosereza mu mpaaba yaabwe era baleete obujulizi obupya okuwakanya okulondebwa kwa Pulezidenti Museveni mu kalulu akaakubwa nga January 14. Sseggona agamba nti Kyagulanyi yasibirwa ewaka ekyamulemesa okukung’aanya obujulizi mu budde obulagirwa ssemateeka obw’ennaku 15.
Wabula Museveni ng’ayitira mu bannamateeka be abakuliddwa Ebert Byenkya, bategeezezza abalamuzi omwenda abakuliddwamu Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, nti amateeka tegabakkiriza kukkiriza kusaba kuno kuba waliwo obudde obulagiddwa mu mateeka nga buno bwayiseeko.
“Omuwawaabirwa asooka (Museveni) awakanya okukola ennongoosereza mu musango guno era ng’alina ensonga ez’enjawulo. Okusooka omusango g’obwapulezidenti tegulina kukolebwamu nnongoosereza.” Byenkya bw’agambye.
Byenkya asabye kkooti okugoba okusaba kuno kuba kwayise mu nnaku 15 eziragirwa mu mateeka.
Ssaabalamuzi Owiny-Dollo bw’abuuzizza Byenkya ku kutataaganyizibwa kwa Kyagulanyi ng’asibirwa mu nnyumba, ono ategeezezza nti kino kya kwekwasa kuba bannamateeka be baali basobola bulungi okuteekateeka empaaba ye bw’aba ye yali musibe. N’akuliddemu bannamateeka b’akakiiko k’ebyokulonda, Joseph Matsiko, ategeezezza nti nabo tebakkiriza nnongoosereza mu mpaaba kuba obudde obulagirwa mu mateeka bwayitako.
“ Tekikkirizibwa kuleeta nsonga mpya wabweru w’ekiseera ekiragiddwa mu Ssemateeka, n’olwekyo okusaba kwabwe tekulina kukkirizibwa.” Matsiko bw’asabye.
Mu mpaaba, Kyagulanyi gy’ayagala okukolamu ennongoosereza, avunaana Museveni emisango 15 okuli n’okugulirira abalonzi. Matsiko agambye nti omusango gwa Amama Mbabazi Kyagulanyi kwe yeesigamye okusaba akole ennongoosereza, okukyusaamu okwakolebwa kwali tekulimu bujulizi bupya bw’atyo n’asaba omusango gugobwe era Kyagulanyi abaliyirire.
Ate ye Ssaabawolereza wa gavumenti, William Byaruhanga, naye asabye kkooti okugoba omusango guno kuba omuwaabi yasoose kusoma kwewozaako kwe n’alyoka ayagala okutereeza mu mpaaba ye.
We tukoledde eggulire lino ng’omusango gukyagenda mu maaso, era tujja bikutuusaako buli ebigenda mu maaso.








