Bya URN
Akakiiko k’ebyokulonda kongezzaayo ennaku z’okwewandiisi eri abo abaagala okwesimbawo ku bwa pulezidenti okuva nga August 12 ppaka mu wiiki esooka eya October.
Bino byalangiriddwa akulira akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama bweyabadde asisinkanyeemu akakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka.
Kyokka ennaku z’okulonderako abakiikirira abalema, abakadde n’abavubuka zo tezaakyusiddwa nga zino zaakubaawo wakati wa 6 ne 10 og’okuna wamu ne gavumenti ez’ebintundu wakati wa 27-28, og’omusanvu 2020.
Wiiki ewedde akakiiko ka palamenti kano era kaali kasazeewo okukyusa
ennaku z’okwewandiisizaako nga bagamba nti tebalina ssente z’akunonya bululu.
Mu kulonda kwa 2016 okwewandiisa kwaliwo wakati w’og’omwenda n’ogwekkumi nagumu 2015.
Akulira akakiiko kano
Jacob Oboth yasiimye akakiiko k’ebyokulonda
olw’okukyusa ennaku zino.