Musasi waffe
Akakiiko akakola ku by’okulonda mu ggwanga kongezezzayo ennnaku z’okukebereramu enkalala z’abalonzi wamu n’okwewandiisa kwa balonzi abapya. Mukiwandiiko eri abamawulire nga kyateereddwako omukono ssentebe w’akakiiko Omulamuzi Simon Byabakama Mugyenyi, Akakiiko kategeezezza nti okwongezaayo kuno okwabadde kukoma nga Ntenvu 17 kwavudde kukusaba kwabo bekikwatako wamu n’omuwendo gw’abantu omungi mu bifo awakebererwa enkalala. Okukebera enkalala kwatandika nga Musenene 12 era nga kwali kwakuggwa nga Ntenvu 11 wabula era akakiiko nekongezaayo okutuusa nga Ntenvu 17. “Akaiiko kaatudde ku makya ga leero nakatunuulira ensonga ezenjawulo ezaaleeteddwa bakikwatako lwaki tulina okwongerayo enteekateeka eno. Muno mwabaddemu embeera y’obudde embi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, abantu abangi abaagala okwewandiisa. N’olwekyo akakiiko kasazeewo okwongarayo enteekateeka eno okutuusa nga Ntenvu 23. Oluvanyuma lw’ennaku ezo, tejja kuba kwongezaayo kulala kwonna,” Byabakama bweyategezezza mukiwandiiko. Eggwanga ligenda genda mukulonda kwabonna mu 2021 mwerinaakyusiza abakulembeze ku mitendera gyonna okuva ku pulezidenti okutuukira ddala ku gavumenti ez’ebitundu.