Maj Gen Gregory Mugisha Muntu avumiridde ekya Akakiiko k’ebyoulonda okubagaana okutegeka olukungaana ttabamiruka olw’ekibiinakye.
Okusinziira ku nteekateeka yaabwe bano babadde baakubeera n’olukiiko luno nga August 6.
Muntu yategeezezza nti bawandiikidde Akakiiko kano naye babadde tebannafuna kuddibwamu.
Muntu yagambye nti abantube baatwalira akakiiko k’ebyokulonda obutambi obulaga nnamungi w’omuntu mu Kampala asinga abo bebaagala okutuuza mu ttabamiruka waabwe.
“Olukungaana olwengeri eno terusobola kuba lwabulabe mungeri yonna singa abantu baba bagoberedde ebiragiro bya gavumenti,” Muntu bweygaambye.
Olw’ekirwadde kya Covid-19, gavumenti yawera enkungaana z’ebyobufuzi zonna.
URN