Bya Ssemakula John
Kampala
Akakiiko k’ebyokulonda kalabudde abeesimbyewo ku bubaka bwa palamenti abagenda okwewandiisi olwaleero n’Olwokutaano ku woofiisi z’ebyokulonda ez’enjawulo, okwewala okugenda n’abawagizi abangi ne kabasaba balinde ennaku ezinaabaweebwa okukubirako kampeyini.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/10/Paul-Bukenya1.jpg)
Omwogezi w’akakiiko kano, Paul Bukenya, ategeezezza nti wadde abawagizi baagala okulaga essanyu eri abantu baabwe naye balina okukimanya nti tukyali mu mbeera ya Ssennyiga Corona, era ng’ekiragiro ekyayisibwa Minisitule y’ebyobulamu ku bantu obutakung’aana, kikyaliwo.
“Ndowooza beewale okutambula mu bibinja n’oluseregende lw’emmotoka. Abeesimbyewo balina kutambula na mmotoka bbiri okutuuka we beewandiisiza era emmotoka zino tezirina kubeeramu bantu basukka basatu, tukyali mu mbeera ya COVID-19,” Bukenya bw’agambye.
Ono ategeezezza nti tebaagala mujjuzo mu bifo beesimbyewo gye beewandiisiza n’ategeeza nti buli eyeesimbyewo yasabiddwa abantu kkumi (10) abamusemba nga tewali nsonga lwaki baleeta abawagizi abangi okubawerekerako.
Alabudde nti singa bano balemerako nebaleeta abawagizi okutaataaganya kaweefube ono, poliisi egenda kubeerawo ng’ebalinze ate nga kino tebandikyagadde.
Kinajjukirwa nti mu mwezi Gwomukaaga omwaka guno, akakiiko k’ebyokulonda kaawera enkung’aana z’abantu abangi okutangira ekirwadde kya COVID-19.
Bukenya abagenda okwewandiisa abasabye okugenda n’empapula z’obuyigirize wamu n’ebintu byonna ebibakwatako omuli; empapula z’okwewandiisa eziriko emikono gy’abantu 10 ababasemba, lisiiti ekakasaza okusasula ssente obukadde 3 ez’okwewandiisa, ndagamuntu, empapula eziva mu bibiina byabwe eri abali ku kkaadi, n’empapula z’obuyigirize kibayambe obutataganyizibwa.
Ono azzeemu n’asaba abeesimbyewo obutateeka bawagizi baabwe mu katyabaga ka COVID-19 olw’ akalulu era n’abawa amagezi olumala okwewandiisa baddeyo ku mirimu gyabwe okutuuka ku Mmande lwe banakkaanya ku ngeri gye bagenda okukubamu enkung’aana z’abantu abatono.
Bwabuuziddwa ku bantu be basuubira okuwandiika olunaku lwaleero, Bukenya agambye nti tasobola kuteebereza naye n’akakasa nti akakiiko keetegefu okuwandiika bonna abalina ebisaanyizo.
Bukenya asuubizza nti bagenda kutegekawo olunaku olw’enjawulo okuwandiikirako abagenda okukiikirira abavubuka, abakadde, abakozi, abaliko obulemu n’abakiikirira amagye mu palamenti.
Bannayuganda bagenda kukuba akalulu ka bonna okulonda abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo mu January wa 2021.