Bya Ssemakula John
Kyambogo
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Omulamuzi Simon Byabakama, agumiza munnakibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), ng’akakiiko bwe kagenda okumukuuma asobole bulungi okunoonya akalulu ka 2021.
Bino Byabakama abyogedde akwasa Kyagulanyi ne ttiimu ye, ttiimu y’abapoliisi egenda okukola ku by’okwerinda bye wamu n’omukwasa emmotoka gy’agenda okukozesa mu kalulu.
“Ebyokwerinda bye tukuwa byakulaba nga bikukuuma so si kutiisatiisa era tugenda kuteeka abapoliisi bana mu maka go kubanga weesimbyewo era buvunaanyizibwa bwaffe okulaba ng’okuumibwa.”/Byabakama bw’agambye.
Wabula Kyagulanyi alaze obutali bumativu bw’ategeezzza nti ebitongole by’ebyokwerinda byakufuba okulaba nga bimulemesa okunoonya akalulu.
Ono Byabakama amukakasizza ng’akakiiko k’ebyokulonda bwe kalina omulimu gw’okulaba ng’abeesimbyewo bonna bakuumibwa butiribiri.
Kyagulanyi aloopedde Byabakama ku nneeyisa y’abapoliisi abazze bakuba abantu be wamu n’okubagobaganya abawagizi ababadde bamulinze ku makubo okumuwubirako.
Ono acoomedde poliisi olw’okulaga kyekubiira olw’okuleka abawagizi ba Museveni nebeetaayiza ku nguudo za Kampala ku Mmande wamu n”okuyisa ebivvulu.
Bobi Wine asabye ab’akakiiko k’ebyokulonda okumanya nti Uganda ebatunuulidde era bafube okulaba nga wabaawo obwenkanya mu kalulu ka bonna 2021.
Oluvannyuma Kyagulanyi ayogeddeko eri bannamawulire n’abalaga ebimu ku bintu ebikulu by’atandikirako okukola singa anaaba awangudde akalulu kano.