
Bya Ssemakula John
Kampala
Akakiiko k’ebyokulonda katangaazizza ku biwayi ebibiri ebyetemyemu mu kibiina ki National Unity Platform (NUP) nekakasa nti Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine ye mukulembeze omutuufu gwebamanyi.
Kino kiddiridde Moses Nkonge Kibalama okuteekawo ekiwayi ekikye nakiteera amakanda e Kabowa okwawukana ku kya Bobi Wine e Kamwokya nga agamba nti bano baava ku ndagaano gyebakola era enebayisa olugaayu mu ssemateeka w’ekibiina.
Kibalama ne banne bannyonnyodde nti obwerufu bubabuze mu bukulembeze bwe Kamwokya, era wano webasinziira nebategeka Ttabamiruka w’ekibiina eyasalawo bakole ekitebe kyabwe e Kabowa mu Lubaga.
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa akakiiko k’ebyokulonda nga June 22, 2022 eri Kibalama ne Paul Ssimbwa nga bonna bammemba ba NUP wamu ne Ssaabawandiisi w’ekiwayi kino Leonard Mulekwah nekakakasa nti Kyagulanyi ye mukulembeze omutuufu gwebamanyi.
Akakiiko k’ebyokulonda era kajjukiza Mulekwah ne Kibalama ebbaluwa gyebakawandikira nga bakategeeza nga bwebalekulidde ebifo byabwe mu kakiiko k’ekibiina ak’okuntikko nebabikwasa Robert Kyagulanyi Ssentamu ne banne.
Abakulira akakiikp kano era bagamba nti tebanafuna kiwandiiko kyonna mu butongole okuva mu kakiiko akafuzi ak’ekibiina nga kalaga nga Kyagulanyi bwalekuliddde ekifo kye awamu ne babadde akulembera nabo nga Kibalama ne banne bwe bagamba.
“ Tewali kiwandiiko kyonna mubutongole kyetwafunye nga kiraga okulekulira oba okukyuusa woofiisi oba obukulembeze nga ennyingo nnamba 6.2 (c) (i) eya Ssemateeka w’ekibiina bwegamba kuba omuntu emuwa emyka 5, ” Abakakiiko bwebagasseeko.
Era bano Kibalama ne banne babawadde amagezi bwebaba baagala okukyuusa obukulembeze bategeke Ttabamiruka nga bagoberera okulambika kwa Ssemateeka w’ekibiina.









