Bya Ssemakula John
Kampala
Akakiiko akavunaanyizibwa ku by’okulonda aka ‘Uganda Electoral Commission’ kafulumizza enteekateeka z’akalulu ka 2026, okusobozesa abeegwanyiza okwesimbawo mu bifo ebyenjawulo okwetegeka.
Abakulu mu kakiiko kano bagamba nti okuloneda Pulezidenti w’eggwanga kujja kubeerawo ku Mmande nga 12 January, 2026 okutuuka nga February 2026.
Bino byonna biteereddwa mu nnambika y’Akakiiko k’Ebyokulonda ey’emyaka 5 etongozeddwa ssentebe waako, Omulamuzi Simon Byabakama ku Hotel Africana ku Lwokusatu nategeeza nti eno eva mu 2022/2023 okutuuka mu 2026/2027.
Bw’abadde atongoza ennambika eno, Byabakama asabye abantu okugigenderera basobole okweteekateeka obulungi era baakukolagana n’abantu abakwasibwako ensonga okulaba nti bannansi bafuna akalulu ak’amazima n’obwenkanya.
Byabakama agasseeko nti enteekateeka eno yakuwemmenta obuse (Trillion) 1,387,829,929.
Okusinziira ku nnambika eno abanesimbawo kubwa Pulezidenti bakwewandiisa ku Lwokuna nga 2, October n’Olwokutaano nga 3 October 2025 ate abali ku bifo by’ababaka ba Palamenti beewandiise ku Lwokubiri nga 16 ne 17 September 2025.
Abakulira akakiiko kano bategeezeza nti bo aba gavumenti ez’ebitundu bakwewandiisa ku Lwokusatu nga 3 okutuuka ku Lwokutaano nga 12, September 2025.
Abaneesimbawo okukiikirira ebibinja ky’abantu abenjawulo ( Special Interest Groups ) bewandiisa ku Mmande 8 okutuuka ku Lwokutaano 12, December 2025.
Omukolo guno gwetabiddwako Ssaabaminisita Robinah Nabbanja ne Minisita w’ensonga z’amateeka Norbert Mao awamu n’abakungu abalala.