
Bya Ssemakula John
Kavule -Mpigi
Akabenje kagudde ku luguudo lwa Kampala – Masaka ku Lwokuna ku makya nekatta omuntu omu ate abalala 6 nebatwalibwa mu ddwaliro nga biwalattaka
Omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga, Faridah Nampiima akakasizza akabenje kano nagamba nti kagudde mu kitoogo kye Kavule nga kavudde ku mmotoka y’ekika kya Fuso nnamba UBE 141A ebadde yeetisse amatooke.
Nampiima ategeezezza nti Fuso eno ebadde eva Masaka ng’edda Kampala.
“Emmotoka eremeredde omugoba waayo negwira emmotoka endala Toyota Noah nnamba UAZ401K,” Nampiima bw’ategeezezza.
Afudde ategeerekeseeko lya Yvonne nga ali mu myaka nga 16 ng’ono y’omu ku b’oluganda ababadde batambulira mu Toyota Noah.
Okusinziira ku Nampiima abafunye ebisago batwaliddwa mu ddwaliro lya Double Cure okufuna obujjanjabi obusookerwako.
Kino kyongera okulaga nga Uganda bwekyali erimu ku mawanga agasinga okufiiramu abantu ku nguudo nga okunoonyereza kulaga nti abantu 10 bebafa buli lunaku mu bubenhe buno.
Mu wiiki emu yokka wakati wa 2/July ne 9 July abantu 89 bebafiira mu bubenje ez’enjawulo ku nguudo.
Ab’obuyinza embeera eno bagitadde ku baddereeva abavugisa ekimama awamu n’abantu abalala abakozesa obubi enguudo zino.









