Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yalaze ng’abayeekera ba Allied Democratic Forces(ADF) bwe bagenda okufuuka ebyayita mu bwangu oluvannyuma lw’eggye lya UPDF okukwatagana n’erya Congo ne. batandika okubabunya emiwabo mu kitundu ky’Obuvanjuba bwa Congo.
Kino Museveni yakirangiridde Kololo ku Lwokusatu, eggwanga bwe lyabadde lijjukira nga bwe giweze emyaka 36 nga gavumenti ya NRM ekutte obuyinza okuva ku Apollo Milton Obote ne basajja be n’agamba nti akabinja ka ADF katono nnyo era kaakuwangulwa mu bwangu.
“Aba LRA baliko wano naye twabawangula. ADF nayo tugenda kugiwangula. Twabawangula wano ne basalawo okuddukira e Congo gye bali mu kutirimbula baganda baffe abeeyo. Wano bajja olumu n’olumu ne batega bbomu n’okutta bamashiekh naye tugenda kubawangula.” Museveni bwe yaweze.
Akabinja kano aka ADF emyaka egiyise amakanda kaabadde kagasimba mu kitundu kya North Kivu, Ituri ne South Kivu era nga kino kibaddemu obubinja obwenjawulo okuva mu 1998. Mu kitundu kino mwemuli ebibuga nga Goma, Butembo ne Beni , Lubero, Masisi ne Rutsuru nga bino abayeekera bano bye bakozesa okuyimirizaawo ebyenfuna byabwe.
Museveni agamba nti abayeekera bano okusobola okwebeezaawo, balumba ebyalo ne babinyagulula olwo bye bafunye ne babitunda ku bibuga ebyo okusobola okutambuza obulamu.
Okusinziira ku Museveni bano balina bakayungirizi mu bibuga nga Beni ne Goma awamu ne Uganda nga be basobozesa okwebeezaawo.
“Babadde balina bakayungirizi ababayamba okutunda bye babeera banyaze ng’ekirime kya Kooko, olwo ssente ne bazisindikira ab’amaka gaabwe awamu n’okugula bbomu n’ebyokulwanyisa. Bano era basima ebyobugagga eby’omu ttaka ne babitunda.” Museveni bwe yannyonnyodde.
Museveni era yasiimye gavumenti ya Congo olw’okubakkiriza okuyingira munda mu ggwanga lyabwe mu bikwekweto bya Shuja okusobola okugobayo abayeekera ba ADF.
Kinajjukirwa nti eggwanga ly’Amerika lyali lyateeka abayeekera ba ADF ku lukalala lw’ebibiina by’abatujju mu nsi yonna olwakakwate ke balina ku batujju b’ensi yonna aba Islamic State era bano bazze beewaana okubeera emabega w’obulumbaganyi obubeera bukoleddwa aba ADF.
Abayeekera bano kati bakulirwa Musa Bakulu, eyali omusomesa w’eddiini mu kibinja kino wabula oluvannyuma lw’okukwata Jamil Mukulu mu mwaka gwa 2015, ono yeddiza obuvunaanyizibwa bw’okukulembera banne.
Kigambibwa nti olw’ennumba ezakoleddwa eggye lya UPDF mu bbanga eriyise, abayeekera bano badduse mu kitundu we baali baasimba amakanda ne beeyongerayo munda mu bibira.