![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/03/Mr-Abubaker-Kawalya.jpg)
Musasi waffe
Abubaker Kawalya kansala akiikirira amambuka g’eggombolola y’e Lubaga ku lukiiko lwa KCCA alondeddwa nga sipiika w’olukiiko luno asookedde ddala oluvanyuma lw’ennongoasereza mu tteeka.
Kawalya efunye obululu 17 okuwangula amezze munna FDC munne Doreen Nyanjura eyafunye obululu 14.
Wabaddewo embiranye ey’amanyi wakati wababiri bano oluvanyuma lw’ekibiina kyabwe okuwanda eddusu ku Nyanjura okwesimbawo.
Wasooka kubaawo akalulu mu kibiina okusalawo ani anaakwatira ekibiina bbendera wabula nga kano kaawangulwa Kawalya.
Ekibiina kyasazaamu okulonda kuno kyo nekironda Nyanjura ng’ono yakiikirira ssettendekero wa Makerere ku KCCA.
Munna NRM Burhan Byaruhanga naye yabadde yesimbyewo wabula ng’ono yavuddemu akalulu kano nga tekannabaawo.
Oluvanyuma Kawalya arayiziddwa omulamuzi omukulu owa kooti ento eya Buganda Road Mariam Ayo Okello era naatandika emirimu gye egy’obwa sipiika.