Bya John Ssemakula
Kampala
Wabaddewo akasattiro ku kkanisa ya All Saints mu Kampala enkya ya leero ku Lwokubiri, abiwayi eby’enjawulo bwe bikaayanidde omulambo gwa Munnamateeka Bob Kasango okukkakkana nga guteereddwa ku mmotoka ne gutwalibwa.
Okusabira omwoyo gw’omugenzi kubadde kutambudde bulungi era ng’omubiri gwa Kasango gwaleeteddwa bulungi ne guyingizibwa mu kkanisa eno awatali kavuyo konna.
Wabula entabwe evudde ku nnamwandu wa Kasango okutegeka okuziika Kasango mu maka ge ag’omu kyalo agasangibwa e Fort Portal mu Tooro.
Wabula abooluganda nabo babadde bategese emmotoka wabweru w’ekkanisa nga balinze omulambo okugutwala ku kiggya gye bazaalibwa.
Oluvannyuma lw’okusaba ng’omulambo gufulumizibwa mu kkanisa, abooluganda baguggye ku kkampuni eziika ne bagutikka ku mmotoka era ne gutwalibwa awantu awatannamanyibwa n’okutuusa kati.
Kasango y’abadde nannyini kkampuni ya bannamateeka eya Hall and Partners esangibwa mu Kampala era yafiiridde mu ddwaliro ly’ekkomera lya Murchison Bay e Luzira nga yafudde kirwadde kya mutima ekirudde nga kimutawaanya.
Mu mwaka 2018, Kasango yasingisibwa omusango gw’okubulankanya ssente eziwera obuwumbi 15.4 ezaali ez’akasiimo k’abakozi. Omulamuzi wa kkooti ewozesa abakenuzi,Margret Tibulya, ono yamusingisa omusango n’abakungu abalala basatu aba minisitule y’abakozi olw’okubeera n’omukono mu kubulankanya ensimbi zino. Ku bano kuliko eyali omuteesiteesi omukulu owa Minisitule y’abakozi ba gavumenti, Jimmy Lwamafa, eyali omubalirizi w’ebitabo omukulu Christopher Obey n’eyali akulira eby’okunoonyereza n’enkulaakulana, Kiwanuka Kunsa.
Ne gye buli eno, abantu ab’enjawulo bakyagenda mu maaso n’okutendereza obulamu bwa Kasango n’okumwogerako ng’omuntu abadde ayagala ennyo abalala era omuntu mulamu.