Bya Musasi waffe

Kamwokya
Ekibiina ki National Unity Platform (NUP) ategeezezza nga okukyala
kw’ababaka b’omukaga gwa Bulaaya bwekulaze nti ekisinde kya People Power n’ekibiina ki NUP babikiririzaamu okuleetawo enkyukakyuka mu ggwanga mu kalulu ka 2021.
Ensisinkano y’ababaka bano ababadde bakuliddwa akulira omukago guno mu Uganda Attilio Pacific n’abakulembeze ba NUP yamalidde ddala essaawa 4.
Oluvanyuma lw’ensisinkano eno, omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi yagaanye okulambulula ku byateeseddwako wabula nategeeza nti ensisinkano ebadde nkulu nkulu nnyo eri eby’obufuzi bya Uganda.
Ssenyonyi yagambye nti bakozesezza akakisa kano okutongozza ebigendererwa n’emiramwa gy’ekibiina kino, n’okulaba nga batwala obuyinza kuba omukago guno gwe gumu kwejjo egiwaniridde eby’enfuna by’eggwanga.
Ono yanyonyodde nti ba Ambasada babadde bagala okumanya ebikwata ku kibiina kyabwe n’okulaba engeri gyebeetegekeddemu akalulu ka 2021.
Ssenyonyi agamba nti b’ ambasada bano balaze nga bwebali mukwogeraganya ne gavumenti nti abeesimbyewi bonna bayisibwa kyenkanyi.
Wabula yawakkanyizza ebyogerwa nti omukago guno gwe gubateekamu ssente nti ssi kituufu kuba ssente bazijja mu bannayuganda .








