Bya Betty Namawanda
Nyendo
Abatuuze mu kibuga Masaka bakoze Bulungibwansi mu Kabuga k’e Nyendo okusobola okukendeeza ku bucaafu wamu n’okwongera okutangira endwadde.
Bano nga bakulembeddwamu mmeeya omulonde owa Munisipaali ya Nyendo- Mukungwe Owek. Micheal Mulindwa Nakumusana awamu n’omubaka omulonde owa Masaka Juliet Kakande, bayonjeza emyala, okuyoola kasasiro mu butale wamu n’okwera enguudo.
Mmeeya Nakumusana asinzidde wano n’ategeeza nti basazeewo okukola kino oluvannyuma lw’okulaba ng’abantu kasasiro abayitiriddeko ate ng’ekibuga tekirina ssente zimukung’aanya.
Ono agamba nti singa obuyonjo tebwongerwamu maanyi abantu mu kibuga Masaka boolekedde okulumbibwa endwadde naddala mu kiseera ky’enkuba kuba emyala egisinga gyabadde gizibikidde. Ate ye omubaka omukyala omulonde Juliet Kakande
agamba nti okukola bulungibwansi y’emu ku nkola gye baagala okuyitamu okuyonja ekibuga Masaka abantu bamanye nti buvunaanyizibwa bwabwe okukuuma obuyonjo we bakolera.
Bo abamu ku batuuze abeetabye mu kukola bulungibwansi bagamba nti kibayambye nnyo okukendeeza ku bucaafu kubanga bubadde bususse mu Nyendo.