• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Ab’Olugave bafungizza ku kuzimba Obutaka

Gambuuze by Gambuuze
February 24, 2021
in Agafa e Mengo
0 0
0
Ab’Olugave bafungizza ku kuzimba Obutaka
0
SHARES
33
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Mawokota

Katikkiro wa Buganda eyawummula, Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, asabye abantu ba Ssaabasajja okwettanira ennyo enteekateeka ez’okukulaakulanya ebika byabwe kubanga ebika y’emu ku mpagi Obwakabaka kwe buyimiridde.

Owek. Mulwannyamuli nga aliko byannyonnyola Abagave

 Okwogera bino, Owek. Mulwannyammuli  abadde ayanjula enteekateeka  z’okuzimba  embuga  ku butaka bw’ekika ky’Olugave  e Katende mu Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi.

“Nneebaza Abagave na bonna abatali bagave abeetaba mu ttabamiruka, ekivvulu ekyali ku Labonita wamu ne ku Papaz, tubeebaza olw’okusonda ssente era mpozzi n’okubajjukiza okwongera okusonda ssente kuba wakyaliwo ebyetaagisa.” Owek. Mulwannyammuli bw’agambye.

Owek. Mulwanyammuli annyonnyodde nti baliko ebintu bye bakoze  ng’okugula ettaka, okukuba pulaani wamu n’okulondoola ettaka ly’ekika erikyasigaddewo.   “Ffe twagala tutandike n’ekyo kyonna kye tutandisa kubanga bw’ototandika era totandika, ffe tugenda kutandika n’ekyo ekitono kye tulina ne bannaffe abaasuubiza basobole okuleeta bye beeyama, ate n’abalala abatali ba Lugave basobole otukwatirako.” Owek. Mulwannyammuli bw’agasseeko.

Owek. Mulwanyammuli ategeezezza nti baakukola buli kimu okulaba nti buli nnusu ekozesebwa bulungi era basale amagezi okulaba nti buli muzzukulu avaayo okuyambako. Ekizimbe ekisuubirwa okuzimbibwa kyakubeerako woofiisi y’Omutaka Ndugwa, woofiisi z’abakulu b’Obusolya n’Abaamasiga, ekifo awaterekebwa ebikadde oba Museum, n’ekifo awanaatulwanga enkiiko ez’enjawulo.

Ono aggumizza Abagave nga bwe batandise okulondoola ettaka ly’ekika eryali lyatundibwa mu bukyamu era n’asuubiza okubawa amawulire ku kinaaba kituukiddwako, kuba omusango ab’Olugave baali baagusinga.

 Ssentebe w’olukiiko olutwala ekika ky’Olugave, Fred Katende Kyekango, ategeezezza nga bwe basobodde okukunga abazukulu ne bagula ettaka kwe bagenda okuzimba embuga y’ekika era balina essuubi nti mu bbanga eritali ggere, omulimu gw’okuzimba gwakutandika mu butongole.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist