Bya Betty Namawanda
Kyotera – Buddu
Ab’oluganda lwa Richard Kayabula ow’emyaka 43 eyakubwa poliisi amasasi agaamuttirawo mukalulu ke Kyotera bakukulumidde Gavumenti olw’okuddibaga omusango gwabwe nebalemererwa okufuna obw’enkanya ekintu ekyongedde obalabya ennaku.
Kinajjukirwa nti nga 04 /12/2020 Richard Kayabula yakubwa amasasi 3 agamutirawo e Nakatoogo muggombolola ye Nabigasa disitulikiti ye Kyotera nga omuubaka JohnPaul Mpalanyi ne Minisita Haruna Kasolo banoonya akalulu okukiikirira ekitundu kino.
Kigambibwa nti Mpalanyi bweyali yakatandiika okwogera poliisi nga eddumirwa DPC w’e Kyotera eyaliwo Judith Akello saako nabasirikale abagambibwa okuba aba minisita Kasolo bajja mukiffo kino nebatandiika okukuba amasasi ne Ttiyaggaasi mu bantu agaleka nga gasse Kayabula n’abalala basatu nebaddusibwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Kati ab’enganda okuli Nnamwandi, Nabankema Asiyati ne maama w’omugenzi Teo Nalwanga baagala bwenkanya, abasirikale abatta omuntu wabwe bavunaanibwe kuba yeyali abayamba mu buli kimu.
Nnyina w’omugenzi Nalwanga asabye bannabyabufuzi obutagezaako kukaka bantu ku baagala kuba okwagala kuva ku mutima naye bagezeeko okukolera abantu mu ngeri y’okwegula mu kifo ky’okukozesa ekifuba.
Ku nsonga eno, Omubaka Mpalanyi agamba nokutuusa kati akyewuunya okulaba nga gavumenti tevangayo ku kufa kwa Kayabula kyokka nga abanene bwebafa olwo eggwanga lyonna neribeera ku bunkenke nasaba wabeewo obwenkanya.
Ono agasseeko nti bbo nga abakulembezze bakulwana bwezizingirire okulaba nga family Eno efuna obw’enkanya
Omu ku basimattuka amasasi gano Kawonawo Walukaga Hakim anyonyola nti bagezaako okunoonya obw’enkanya buli wantu saako nokugoberera file yabwe natebafuna bwenkanya nga fayiro bagibulankanya.