Bya Ronald Mukasa
Mmengo Kyaddondo.
Aboluganda lw’eyaliko munnamawulire wa Pulezidenti, Joseph Tamale Mirundi eyafa gyebuvuddeko betondedde Obwakabaka bwa Buganda olw’ebigambo ebivvoola n’obulumbaganyi omugenzi bweyayolokezanga Obwakabaka naddala nga akozesa emikutu gy’amawulire n’omutimbagano era nebasaba enkolagana wakati wabwe n’Obwakakaba eddewo. Bano okwetonda bakuyisizza mu Kamalabyonna Charles Peter Mayiga era abategeezezza nti kukkiriziddwa.

Katikkiro ategeezeza nti okwetondera kya buntubulamu era neyeebaza abavuddeyo okwetonda ku lwa Mirundi bwatyo n’asaba Katonda amusonyiwe ebyamusobako. Katikkiro Mayiga agamba wadde Tamale Mirundi yasobya Obuganda, tekimuggyako kusigala nga muzukulu wa Mugema ate ne gunsinze aliwa bitono.

Mukuumaddamula asinzidde mu nsisinkano eno abadde ku Mbuga y’Obwakabaka e Bulange Mengo n’akubiriza abantu okusingira naddala abavubuka okwegendereza ennyo nga bakozesa omutimbagano kubanga gutereka ebintu bingi omuli n’ebiyinza okubakosa mu biseera eby’omu maaso.

Akulembeddemu banne okukiika Embuga era nga mukulu w’omugenzi, John Ssembuya alaze essanyu olw’okusonyiyibwa Embuga era nategeeza Katikkiro nti yayagala okujja okwetonda nga ne muto we akyali mulamu naye nga akugirwa amateeka agafuga omulimu gwe ogw’omukibiina ky’amawanga amagatte (UN) era omukisa agufunye luvannyuma lwa kuwummula ku mulimu ogwo kyokka nga ne Mirundi afudde. Ono ategeezezza nti bbo bawulize eri Nnamulondo era yeeyamye ku lwa banne nti baakwongera okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka.
Kinajjukirwa nti omugenzi Tamale Mirundi yaweerezaako mu Obwakabaka nga asinziira ku leediyo ya CBS era wano weyaggya ettutumu ne gavumenti nemuwa omulimu, ng’ono oluvannyuma yakyukira Obwakabaka natandika okubwolekeza ebigambo ebikaawa ng’omususa. Okusinziira ku Katikkiro, wadde nga kino kyali bwekityo Obwakabaka bwasalawo okumusiriikirira era tebwamwanukula okutuusa lweyava mu bulamu bw’ensi.