Musasi Waffe
Ab’oludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwamu Dr Kizza Besigye batandise okukunganya emikono okusobola okutwala pulezidenti Museveni n’abamu ku baduumizi b’ebitongole by’ebyokwerinda mu kkooti y’ensi yonna ewozesa bakalintalo. Ekkooti eno emanyiddwa nga International Criminal Court etuula mukibuga Hague mu ggwanga lya Budaki. Ng’atongoza okukunganya emikono ku kitebe kya Gavumenti y’Abantu ekisangibwa ku luguudo Katonga mu Kampala, Besigye yagambye nti bakooye gavumenti okubatulugunya nga tebalina kyebakolawo nagamba nti kekano akaseera kokwerwanako. Kinajjukirwa nti sabbiiti ewedde poliisi katono ewanule Besigye kummotokaye waggulu oluvanyuma lw’okumufuuyira amazzi.
Era mu wiiki eyo yenyini, twalaba nga poliisi ekozesa amaanyi okugumbulula banna FDC abakazi abaali bagala okutambuza ebigere. Mumisango emirala gyebavunaana Museveni kwekuli okuttibwa kw’abantu mu Bwakabaka bwa Rwenzururu mu 2017 oluvanyuma lw’amagye okulumba olubiri lw’omusinga Charles Wesley Mumbere. Kiteberezebwa nti abantu abasukka mu 200 battibwa amagye agaali gaduumirwa generali Peter Elweru, kati omuduumizi w’amagye ag’okuttaka.