Bya Ssemakula John
Kampala
Bazzukulu ba Kayiira e Mugulu bakoze kaawa w’emmwanyi nga kino bakikoze okwongera omutindo ku mmwanyi nga ono bamutuumye ‘Mbogo Coffee.’
Kaawa wa Mbogo atongozeddwa omumyuka wa Katikkiro owookubiri era Minisita w’ebyensimbi, Owek. Waggwa Nsibirwa ku Panthal Suits e Goma Seeta -Mukono mu Kyaggwe.
Minisita Waggwa Nsibirwa ategeezezza nti Obwakabaka bwettanidde nnyo okuyitimusa okulima emmwanyi nga kati ky’ekiseera okulaba nga bannansi bettanira okunywa kaawa okusobola okutumbula akatale ak’awaka.
“Emmwanyi erina essente, toyinza kubeera awo oli n’agamba nti zimpole ate osobola okutunda ekimuli wadde kino tetukikkiriza kuba twagala munoge myufu era osobola okuzitunda n’ekikopo. Tetwetaaga kuggya bazungu bweru okutuyigiriza okugirima wadde ebigimusa ebingi ennyo kuba tulina nnakavundira waffe.” Owek. Waggwa bw’agasseeko.
Owek. Nsibirwa annyonnyodde nti emmwanyi kirime kyattunzi era ekivaamu ebintu ebyenjawulo ate nga kaawa kyakunywa kya mugaso nnyo eri abantu nga kisaanye okussibwamu amaanyi era bannansi basaanye okutegeezebwa emigaso egiri mu kaawa n’emmwanyi.
Omuzzukulu wa Kayiira era akulembeddemu enteekateeka eno, Edward Lutakome Ssentamu agamba nti baagala okutumbula omutindo gw’emmwanyi erimibwa mu Buganda kuba esobola bulungi okuvuganya ku katale k’ensi yonna.
Akulira okulondoola omutindo gw’emmwanyi mu kitongole kya ‘Uganda Coffee Development Authority,’ Doreen Rose Reihabwe ategeezezza nti Uganda ly’eggwanga erisinga okulima emmwanyi ku lukalu lwa Africa, kyokka ng’ezisinga zitundibwa wabweru nga waliwo obwetaavu okuzongerako omutindo.
Reihabwe alaze nga bwe bakwataganye n’ekitongole kya NARO okukuza ekika ky’emmwanyi ya Robusta ekirimibwa e Brazil kuba bazudde nti kisobola okukola ku ttaka lya wano.