
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Abakulira ekibiina ky’Olulimi Oluganda basiimiddwa olw’okutumbula Olulimi luno n’okulukulaakulanya n’okutwala eggwanga mu maaso.
Okusiima kuno kukoleddwa Katikkiro w’Ekika ky’Engo, Lubowa Ssebina Gyaviira ku Lwokusatu ku lunaku lw’okukuza olunaku Lw’ennimi ennansi munsi yonna.
Lubowa Ssebina era akunze abantu okwetanira okulambula ekkaddiyizo lya ssekabaka Muteesa, eliguddwawo olwaleero ku ssettendekero e Makerere bongere okumanya obuwangwa.
Ono akuutidde abazadde obutalagajalira baana baabwe baleme kuwaganyala nakwetanira mizze ng’okunywa biragalalagala nebirala ebiringa ebyo.
Amyuka omuwandiisi ow’enkalakalira mu Bwakabaka Omuk.u Peter Zake Ssenyonga Ssebayiga, asabye wabeewo okulambikibwa munkozessa y’ebigambo ebitali bimu okusobola okukulaakulanya olulimi Oluganda.
ono era asabye abavubuka okuteeka olulimi Oluganda kumwanjo nga balusosoowaza ku mikutu mugatta bantu gamba nga Facebook TikTok nemirala.
Ye omuwandiisi webitabo by’olulimi oluganda, Dr Kimara Adam akunze abaganda okwagazissa abaana olulimi lwabwe nga balubasomesa okutandikira dala mumakka mwebasibuka.
Ono era asabye wangunjibwewo sirabaasi y’olulimi oluganda mumasomero abaana basomesebwe ebintu ebituufu.









